OMUTANDISI w’amasomero ga Hormisdallen Schools (HORMISDASC) Kizito Mukalazi, afudde n’aleka abooluganda n’emikwano mu kiyongobero.
Mukalazi yafiiridde ku myaka 73, ku Lwokutaano oluwedde ku ddwaaliro lya Kampala Hosipital gy’abadde amaze wiiki ssatu ng’ajjanjabwa. Ye mutandisi era nnannyini masomero ga Hormisdallen agalina amatabi e Kamwokya, Kyebando, Gayaza ne Kiteezi.
Eggulo, omubiri gw’omugenzi gwatwaliddwa ku ssomero lye ery’e Gayaza ku ssaawa nnya ez’oku makya, nga gwatuukidde mu mizira okuva mu bbandi ey’essomero lya Janan Schools e Kasangati, ne bagenda nga banyaanyaagiza emirere okutuuka e Gayaza ku ssomero. Eno ye waabadde olumbe n’okusaba okw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’omugenzi.

Wankaaki w'amaka ga Mukalazi e Namulonge.
ENGERI GYE YAFUDDEOkusinziira ku Dr. Emmanuel Ssekasanvu omukugu mu kujjanjaba ndwadde z’ensigo, Mukalazi abadde atawaanyizibwa endwadde enkambwe okuli ssukaali, puleesa n’obulwadde bw’ensigo.
Era okusinziira ku ba ffamire, baamutwalako e Buyindi gye buvuddeko, n’alongoosebwa
ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo, era yagenda okukomawo ng’omusajja eyali omunene ng’akozze, yaddamu okulabika mu bantu nga yenna yakendeera. Dr. Ssekasanvu yagambye nti, mu nnaku z’omugenzi ezaasembyeyo, omubiri gwe gwalumbibwa 'Infection' n'erya ekibumba, ensigo, amawuggwe n'etuuka ne ku bwongo, era engeri omubiri gye gwali gunafuye olw’obutoffaali obulwanyisa endwadde mu mubiri okuba nga tebwasobola kulwanyisa buwuka buno.
ENGERI GYE YAVA MU BYENNYANJA N’AFUUKA BINOJJO MU BUSOMESAMukalazi obulamu bwe, teyabutandika nga musomesa. Yasooka n’ava mu ssomero olwa ffiizi, n’atandika okusuubula ebyennyanja ku kyalo Buzimba e Gomba. Olw’okuba yali ayagala nnyo okusoma, mu kusuubula ebyennyanja mwe yaggya akasente
akaamuyamba okweweerera okutuusiza ddala lwe yeewangulira ebbaluwa y’obusomesa ey'eddaala eryokusatu gye yafunira mu ttendekero ly'e Busuubizi e Mityana.
Yeeyongera okubanguka okutuusa lwe yafuna diguli mu busomesa. Mukalazi olw’okuba yali ayagala okukwata ku bulamu bw’abantu, yatandika okussa mu nkola ekirowoozo
ky’okutandika essomero ery’obwannannyini mu 1986.
Nga February 12, 1986, Mukalazi yatandika essomero ne mukyala we Allen e Kirinnya mu Bweyogerere era erinnya lya Hormisdallen okulifuna, yagatta erinnya lye erya Hormisdasc n’agattako erya mukyala we Allen ne bafunamu erinnya limu erya Hormisdallen.
Ebyafaayo by’amasomero gano ebiri ku kibanja ky’essomero ku yintaneeti, biraga nti, essomero lyatandika n’abaana mwenda n’abasomesa basatu, nga lya nassale, kyokka ne ligenda nga likula okutuuka ku ky’omusanvu. Kyokka oluvannyuma yayawukana
ne Allen era bwe baayawula n’essomero ne likyuka ne lifuuka New Hormisdallen - Kirinnya.
Mukalazi yatandika essomero eddala e Kamwokya mu divizoni a Kampala Central mu Kampala, era nalyo lyatandika ne nassale ne likula okutuuka ku P.7.
Essomero lyayongera okugaziwa n’atandika amatabi amalala okuli ery’e Kyebando, Gayaza, ne Kiteezi. Ng’oggyeeko amasomero, omugenzi abadde n’ettaka mu
bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga Kampala, Wakiso, Mukono ne Luweero.
Emmere esinga gy'aliisa abaana mu masomero abadde agyerimira ku ttaka lye.
Alese ebizimbe by'obusuubuzi ebiwerako mu bitundu bya Kampala n’emiriraano nga ekya HMK Building e Kasangati.

Namwandu Nnaalongo Ritah ku ssanduuko ya bba.
OBWAKABAKA BUMUKUNGUBAGIDDEObwakabaka bwa Buganda bwakungubagidde omugenzi Mukalazi, abadde ayagala ennyo Obwakabaka kyokka nga takoma ku kubwagala, wabula n’okubukolerera.
Omukwanaganya w’emirimu gy’ekisaakaate kya Nabagereka, Adrian Mukiibi, yasinzidde mu kukungubagira omugenzi e Gayaza, n’asoma obubaka bwa Nnaabagereka Sylivia Naginda eyatenderezza omugenzi olw’ekisa n’okufaayo okusitula omwana omuwala mu byenjigiriza.
Yayongeddeko nti, mu 2024 ne 2026, yayamba nnyo mu nteekateeka z’Ekisaakaate
kyategekebwa ku masomero ge, ng’ayagala okugatta ettoffaali ku kulambika omwana omuwala. Aba ffamire yabakwasizza Zabbuli eya 23 okubabudaabuda mu kaseera kano
akazibu.
Ne Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagambye nti, omugenzi badde ayagala nnyo Obwakabaka era ng'ajjumbira n’emirimu gyabwo.
BAMUKUNGUBAGIDDEMu bakungubagidde omugenzi, mwe muli Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza John Chrysestom Muyingo, eyagambye nti, omugenzi abadde amuwabula n’okumuwa amagezi nga minisita era tazzikawo.
Etteeka ly’abasomesa eryayisiddwa mu Palamenti wiiki ewedde, yagambye nti, omugenzi abadde musaale mu kulibaga, ng'alafuubanaokutereeza embeera z’omusomesa, abeere ng’aweesa ekitiibwa mu bantu.
Ye minisita Kabuye Kyofatogabye yagambye nti, mukyala we yasomera ku Hormisdallen ate n’abaana be era we baasomera, kubanga Mukalazi yateekawo omusingi ogw’amaanyi ogubangula abayizi.
Omusumba w’ekkanisa ya Christian Focus Center mu Kisenyi, Bishop David Kiganda ye yakulembeddemu okusaba kw’okwebaza
Katonda olw’obulamu bw’omugenziera yasabye abakkiriza okulabira ku Mukalazi babeere beetowaze mu bulamu ate beekwate Katonda mu buli kye bakola.
Ng'omubiri gwe tegunnatwalibwa Gayaza ku Ssande, waabaddewo okumusabira ku ttabi ly'e Kyebando ku Lwomukaaga nga kwategekeddwa omu ku bannamwandu Norah Mukalazi, baasiimye emirimu gy'akoze okukulaakulanya ekitundu. Norah Mukalazi omugenzi amulinamu abaana bataano omuli: Dorothy Nankya, Joan Mukalazi, Jovan Mukalazi, Kiwummulo Mukalazi ne Namubiru Mukalazi beebazizza kitaabwe okubaagala n'okubaweerera.
MUKALAZI Y’ANI?Yazaalibwa mu 1955 ku kyalo Buzimba mu disitulikiti y’e Gomba. Abadde musomesa omutendeke, ate omutandisi w’amasomero.
Alese amaka ga mirundi esatu e Namulonge, Kyebando ne Kiteezi. Bakyala be abasatu be baddukanya amasomero ge nga mukyala we Norah Mukalazi y’addukanya ery’e Kyebando, Annet Mukalazi ery’e Kiteezi, ate Nnaalongo Ritah Mukalazi y’addukanya ery’e Gayaza.
Eggulo omubiri gw’omugenzi gwasuze mu maka ge e Namulonge gye baakumye olumbe, ate olwaleero gutwalibwe mu Kkanisa ya Christianity Focus Centre Ministries e Mengo - Kisenyi ate aziikibwe enkya ku Lwokubiri e Kagembe -Semuto mu disitulikitiye Luweero