ENKUMI n’enkumi za Bannayuganda bajjumbidde emisinde gy’okukuza amazaalibwa ga Gen. Muhoozi Kainerugaba ne bamutendereza olw’okubeera omuntu w’abantu era
asaanidde n’okufuga ku ggwanga lino. Gen. Muhoozi yazaalibwa nga April 24, 1974 mu kibuga Dar-es- Salaam mu Tanzania.
Pulezidenti Museveni yatadde obubaka ku mukutu gwa X ng’amuyozaayoza okutuuka ku mazaalibwa n’amusiima okuzza empisa mu magye n’okulwanyisa enguzi Emisinde gy’okukuza amazaalibwa ge gyasimbudde ku kisaawe e Kololo eggulo ku Ssande ng’omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa ye yakiikiridde Gen. Muhoozi. Tayebwa yabasimbudde ku ssaawa 1:45 ez’oku makya ng’abadduse kwabaddeko ebikonge mu Gavumenti, amagye, bannabyabufuzi n’abalala. Badduse okwetoloola Kololo, Lugogo ne Nakawa.
Abamu ku badduse ye : Eyali Omumyuka wa Pulezidenti Edward Sekandi, eyali IGP, Gen Kale Kayihura, omumyuka w’omuduumizi wa UPDF, Lt. Gen Sam Okiding, Baminisita Milly Babalanda, Jim Muhwezi, Haruna Kasolo, Balaam Barugahara, Minista Haruna Kyeyune Kasolo , Ruth Aceng , Minisita ow’ebyokwerinda Jim Muhwezi, omumyuka wa ssentebe w’ekisinde kya PLU Micheal Nuwagira Toyota, ababaka abalonde aba palamenti, abakulembeze abaddukanya olukiiko olufuzi olw’oku ntikko olw’ekibiina Kya NRM, Omugagga Sudhir Ruparelia, munna DP Fred Mukasa Mbidde n’abalala bangi. Mu bubaka bwa Muhoozi yeebazizza abantu olw’okumulaga omukwano.