EBBULA ly’amafuta erisaasaanidde eggwanga bwe lituuse e Mbarara ebyentambula nabyo ne bikaluba olw’ebbeeyi y’eng’endo ez’enjawulo n’erinnya.
Abasaabaza abantu okuva e Mbarara beesanze mu kattu, amafuta bwe galinnye nga mu kiseera kino liita eri ku 10,000/- mu disitulikiti z’ebyalo nga Isingiro Bukanga Rukungiri ne Kanungu.
E Mbarara, amasundiro okuggyako Total ne Shell abatunda ku 5,529/- ne 5,010/- amalala okuli Bam, HASS n’endala gatunda wakati wa 7,500/- ne 9,000/- ekikalubizza ebyentambula. Ku masundiro agalina amafuta, wabeerawo omujjuzo nga baddereeva ba mmotoka n’aba boda bagazinzeeko okwefunira ku ‘tufuta’ bangi basimba ennyiriri ne zituuka ne mu kkubo, ekireeseewo akalippagano ak’amaanyi.
Ssentebe w’abavuzi ba takisi, Alon Ikara yategeezezza ng’embeera bw’ebayinze kuba buli lunaku takisi ezifuluma mu kibuga Mbarara n’eziyingira ziri mu 500 n’okusoba.
Abamu ku bagoba ba takisi kati buli lugendo baalwongezza nga kati okuva e Mbarara okugenda e Kasese, osasula 20,000/- mu kifo kya 15,000/- ne 25,000/- ate e Bushenyi, osasula 15,000/- mu kifo kya 7,000/-. Mbarara - Kabale, osasula 20,000/-, Mbarara - Fort Portal (30,000/- mu kifo kya 25,000/-) ate e Kigali, batwalirayo 60,000/-, n’awalala.