Amawulire

Ssaabalabirizi Kajoba alaze obukulu bw’okwebaza

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa y’Abadiventi Samuel Kajoba asabye abantu okujjukira gye nvudde waabwe beebazenga Omutonzi.

Mw. Kiguli (ku kkono) n’aba ffamire mu kusaba kw’okwebaza. Mu katono ye, Ssaabalabirizi Kajoba.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa y’Abadiventi Samuel Kajoba asabye abantu okujjukira gye nvudde waabwe beebazenga Omutonzi.
Yennyamidde olw’abantu abali mu kkanisa obutamanya makulu gali mu kwebaza era beebo abawabizza bannaabwe obutabaako kye bazza eri Mukama te nga kikolwa  kyeyolekera mu kusinza kuba n’okutemya eriiso kya magero eri obulamu w’omuntu nga
agwanidde okukyebaliza Katonda.
Ssaabalabirizi okwogera bino yasinzidde ku kkanisa y’e Makerere SDA asangibwa e
Nakulabye Kiwunya mu kusaba kw’okwebaza okwategekeddwa omukadde w’ekkanisa eno, Ambassador Herbert Kiguli nga yeebaza Katonda olw’ekkula lye yatuuseeko Pulezidenti Yoweri Museveni bwe yamulonda okubeera omubaka wa Uganda ow’enjawulo e Mombasa.
Mu kusaba kuno Ssaabalabirizi yeebazizza Katonda eyalonda Kiguli n’amusuumusa okuva ku ddaala lye yaliko n’amuteeka ku ddaala erisingawo n’asaba abasinza okwekuba mu mitima bayige okwebaza nga bawayo ekimu eky’ekkumi wamu
 n’ebirabo awo Katonda naye anaakola ebyabwe. Yasabye abantu okutambula nga Kabaka Dawudi bwe yakola n’awaayo byonna eri Katonda olw’okujjukira gye yali.
Yeeraliikiridde olw’abantu abatannaba kutegeera Katonda ga balinda kumala kubalangira mu kkanisa wamu n’okubajjukiza ne beerabira nti, eyabatonda y’amanyi enteekateeka z’obulamu bwabwe.
Omukadde Kiguli yeebazizza Katonda n’omukulembeze w’eggwanga eyasiima n’akkiriza afuuke omubaka wa Uganda ow’enjawulo e Mombasa. Okwebaza kuno  wabadde n’ekigendererwa eky’okusonda obukadde 400 awanaateekebwa ekkanisa y’e Kikandwa omujjidde omubuulizi w’enjiri omukyala ayitibwa Mary Tamale n’awaayo
obukadde 200 kw’ezo ezibadde zisondebwa wamu n’obukadde 137 omukadde Kiguli bwe yakung’aanyizza okuyita mu maka ge n’emikwano.