MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja alaze obukulu bw’abeebibanja mu byafaayo by’eggwanga n’engeri gye bazze balikulaakulanya.
Yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yagambye nti amateeka agafuga ettaka mu nsi yonna, gakirambika bulungi nti nnannyini ttaka ye muntu ali ku ttaka ng’alinako ennyumba, alimirako, alundirako oba okukolerako omulimu omulala gwonna.
Kino kitegeeza nti, omuntu ne bw’oba n’ekyapa okuli abasenze obeera olina mpewo kuba tolina ky’oyinza kubakolako. Okumanya okubeera ku ttaka kikulu, Mayanja yagambye nti ow’ekyapa ne bw’osaba looni mu bbanka tebakuwa ssente, ssinga balituukako ne basanga nga kuliko abasenze.
Ebizibu by’okuyigganya abeebibanja, minisita agamba byava dda nga byatandika n’endagaano ya 1900 eyakyusa obwannannyini n’ebeerako be yagabira ettaka ate abalala ne bafuuka abapakasi ku ttaka lyabwe. Embeera eno yaliwo mu myaka gya 1940, abeebibanja we baafunira ennyo mu ppamba ekyaviirako bannannyini ttaka okulinnyisa ssente za Busuulu n’Envujjo. Envujjo gwali mutemwa oweekibanja gwe yatwaliranga nnannyini ttaka ku buli kintu kye yakungulanga ku ttaka.
Kyokka n’abeebibanja bwe baalaba nga banyigirizibwa, ne bakomba kw’erima ne bagaana okuddamu okumulima nga balaba bakolerera bannannyini ttaka.
Gavumenti y’Abazungu eyali efuga bwe yalaba nga guli gutyo, yasalawo okutandika okugereka Busuulu era bwe gwali okuva mu 1945-1975, Amin lwe yabiggyawo. Kino kyali kikoleddwa okutaasa abeebibanja obutabbibwa.
Mayanja agamba Busuulu yassibwawo nga si musaala, wabula kabonero ka kuwa kitiibwa nnannyini ttaka nti omumanyi.
Ekyewuunyisa, Abazungu bwe baatereeza okwemulugunya kw’oweekibanja, abantu baddamu okulima ppamba era waayita emyaka 4, Uganda n’efuuka ensi esinga okulima ppamba mu mawanga agali mu luse olumu ne Bungereza.
Ekiseera kyatuuka n’emmwaanyi ne zirinnya akatale ku katale k’ensi yonna, kyokka Abazungu baagaana okulinnyisa ebbeeyi mu Uganda nga bagamba nti bwe bakikola, Abaddugavubaali bagenda kudda mu kucakala eby’okukola babiveeko.
Kye baakolanga, ssente ze baafissanga mu kutunda emmwaanyi baaziterekanga mu ggwanika, era akatale bwe kakkanga nga bazongerako ng’ebbeeyi esse.
Ssente zino ze baafissanga ze baakozesa okuzimba eddwaaliro ly’e Mulago, ekizimbe kya Palamenti, myuziyamu n’ebifo ebirala eby’enkizo.
Embeera y’okunyigiriza abeebibanja ye yabaviirako okukola ebibiina by’obwegassi okwali eby’abasuubuzi, abalimi era be baatandika ebibiina by’obufuzi nga bakulemberwa Ignatius Kangavve Musaazi eyasooka okukola ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Uganda National Congress.
Mu kiseera ky’okukola Ssemateeka wa 1995, bannannyini ttaka nga Apolo Nsibambi ne Polof. Senteza Kajubi baali basimbye ekkuuli nga tebafa ku waakibanja.
Kyokka Pulezidenti Museveni n’alemerako n’assaamu ennyingo ya 237 (8) eyanyweza oweekibanja nga tewali alina buyinza kumugobaganya era ye yali ensibuko y’obugagga bwe baliko mu kiseera kino.
Etteeka ligamba nti, obwannannyini bw’ettaka ne bwe bukyuka nga baliguze, balisikidde, okugabako liizi oba enkola endala ekkiekkirizibwa mu mateeka, tekikyusa bwannannyini bwa baabibanja basangiddwaako. Etteeka lyakinyweza nti tewali alina buyinza kusengula muntu ku ttaka okuggyako ng’afunye ekiragiro okuva mu kkooti. Ekiragiro kyennyini okuteekebwa mu nkola, kirina kusooka kukakasibwa kakiiko ka disitulikiti ak’ebyokwerinda. Kyokka n’akakiiko kalina kusooka kulung’amizibwa minisita w’ebyettaka. Kyokka waliwo abantu abaziimuula ebiragiro bya Pulezidenti nga beerabidde nti, ekiragiro libeera tteeka.
Mayanja agamba nti, eno y’ensonga lwaki azze akwata abasengula abantu n’okulagira okuzza ku ttaka abaagobwa mu bukyamu kuba obuyinza bwamuweebwa Pulezidenti.