Amawulire

Abantu munaana basindikiddwa e Luzira ku bigambibwa okubba obuwumbi  mukaaga

Abantu munaana basindikiddwa e Luzira ku bigambibwa okubba obuwumbi  mukaaga 

Anbavunaanibwa nga bali mu kkooti
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

ABANTU 8 basindikiddwa ku alimanda e Luzira ku bigambibwa nti benyigira mu kubba obuwumbi 6 okuba.

Bano kigambibwa nti benyigira mu kunyaga ensimbi zino nga bakozesa ebyuma bi kalimagezi ekyaviirako bano okufuriza bbanka ya Finance Trust.

Abavunaaniddwa kuliko Travies Nakabbungo 33, omutuuze we Kabuuma Busabala,Makindye Ssabagabo mu disitulikiti ye Wakiso,Arnest Mulindwa 37 naye nga mutuuze we Kabuuma, Robert Kaweesi 29 omutuuze Salaama, Robert Kisitu 29, Nicholas Ssekyanzi 26, Sister Kyohirwe Family 29 omutuuze we Kyabukaju Akatojo Rubaare mu disitulikiti ye Ntungamo, Doreen Nantale 30 omutuuze we Nkokonjeru mu disitulikiti ye Buikwe ne Amos Lyada 31 omutuuze we Kirinnya Bukasa  mu munisipaali ye Kira mu disitulikiti ye Wakiso vebasimbiddws mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Ritah Neumbe Kidasa.

Bano yabasomedde emisango esatu okuli ogwokukozesa ebyuma bi kalimagezi,ogwobubbi wamu nogwokwekobaana okubba ssente okuva ku bbanka ya Finance Trust 

Oludda oluwabi mu mpaaba yalwo nga lukulembeddwamu omuwabi wa gavumenti Grace Amy kigambibwa nti bano nabalala abatannakwatibwa wakati wa April 3 ne April 8 2026 mu disitulikiti ye Kampala ne bitundu ebyenjawulo mu bumenyi bwamateeka bafuna obuwumbi 6 okuva ku nnamba za MTN 53 wamu neza Airtel 80 nga bakozesa ebyuma bi kalimagezi.

Emisango emirala kuliko ogwobubbi wamu nokwekobaana okuzza omusango bwebabba ssente nga bakozesa ebyuma bi kalimagezi ekikontana namateeka agafuga enkozesa ye byuma bi kalimagezi wabula gyonna bagyegaanye.

Omuwabi wa gavumenti yategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso n'asaba obudde okwogera okunoonya avunaanibwa abalala era omulamuzi bano yabasindise ku meere e Luzira okutuusa nga May 13,2026 lwebanakomezebwawo okumanya omutendera omusango kwegunaaba gutuuse.