WALIWO omukyala asangiddwa nga yasobezeddwako ne bamwambulamu engoye abatemu olwamaze okukola kyebaagala ne bamutta.
Abantu nga bali awabadde ekikangwa 
Omulambo gulabiddwa omutuuze abadde atambula era ono yatemezza ku Poliisi ye Nansana era nayo ne tuuka mu bwangu
Abatuuze betegerezza omulambo gw'omukyala ono nga tebamutegeera era abasinga betwogedde nabo bagamba nti kirabika basoose kumusobyako n'oluvannyuma ne bamutta nga bamwambuddemu engoye ne bamusuula mu mwala.

Abantu nga bali awaasuuliddwa omulambo
Omulambo wegusangidwa wabaddewo ekkanisa y'omusumba Wilson Bugembe nga awali ekisaawe awasambibwa omupiira. Oluvanyuma omulambo gutwalidwa mugwanika emulago