AKULIRA ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashiaja, aliko abasirikale 4,996 basuumusizza ku madaala, ng'omu ku kaweefube w'okulungamya enkola y'emirimu.
Ku bano, 139 bakuziddwa okuva ku junior officer ne bafuulibwa ba principal officer 1, 196 bafuuliddwa ba Principal officer 2, ate 201 bafuuliddwa ba Chief warder / wardress 1 so ng'era 204 batuusiddwa ku ddaala lya Chief warder / wardress 2.
Abalala 432 bafuuliddwa ba Chief warder / wardress 3, abasirikale abalala 1, 512 baweereddwa okubeera ba sergeant warder / wardress , ate 633 bbo ba corporal warder / wardress nga n'abalala 1,679 kati ba Lance corporal warder / wardress .
Bonna, abakuutidde okukuuma empisa, okukola emirimu nga bagoberera obukugu n'okussa ekitiibwa mu ddembe ly'obuntu okusinziira ku mwogezi w'ekitongole kino Frank Baine.