ABANTU abali wakati wa 35 ku 40, be bayinza okuba nga bafiiridde mu mugga, eryato kwe babadde batambulira bwe lyebbise mu mazzi.
Akabenje kano , kabadde ku mugga Nguse ku kyalo Kyaleni mu kabuga k'e Pachwa e Kagadi , eryato mwe babadde batambulira bwe libayiye mu mazzi .
Mu kiseera kino omuntu omu asimattuse Tumuhaise Byaruhanga 27 omutuuze w'e Kyaleni , kyokka ng'omuwendo gw'abantu abayinza okuba nga bafudde, gukyatankanibwa olwobutabaawo biwandiiko mu ntambula zaabwe.
Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti poliisi eyokumazzi n'abavubi, bakyagenda mu maaso n'okunoonya emirambo gy'abantu abafudde.