Amawulire

Abantu abali wakati wa 35 ku 40 bebateeberezebwa okuba nga baafiridde mu mugga

ABANTU abali wakati wa 35 ku 40, be bayinza okuba nga bafiiridde mu mugga, eryato kwe babadde batambulira bwe lyebbise mu mazzi.

Abantu abali wakati wa 35 ku 40 bebateeberezebwa okuba nga baafiridde mu mugga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU abali wakati wa 35 ku 40, be bayinza okuba nga bafiiridde mu mugga, eryato kwe babadde batambulira bwe lyebbise mu mazzi.

Akabenje kano , kabadde ku mugga Nguse ku kyalo Kyaleni mu kabuga k'e Pachwa  e Kagadi , eryato mwe babadde batambulira bwe libayiye mu mazzi .

Mu kiseera kino omuntu omu asimattuse Tumuhaise Byaruhanga 27 omutuuze w'e Kyaleni , kyokka ng'omuwendo gw'abantu abayinza okuba nga bafudde, gukyatankanibwa olwobutabaawo biwandiiko mu ntambula zaabwe.

Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti poliisi eyokumazzi n'abavubi, bakyagenda mu maaso n'okunoonya emirambo gy'abantu abafudde.