Amawulire

Abaagala okudda mu kifo kya Helen Nakimuli e Kalangala batandise okuvaayo

Abakyala abegwanyiza ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kalangala batandise okwesowolayo era nga bava mu bibiina ebyenjawulo.

Omu ku bavuddeyo okwegwanyiza ekifo omubadde Helen Nakimuli
By: Nkuba Samuel, Journalist @New Vision

Abakyala abegwanyiza ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kalangala batandise okwesowolayo era nga bava mu bibiina ebyenjawulo. 

Ku kitebe kya National Unity Platform (NUP) ekisangibwa mu Kalangala Town Council tukitegedde nti abakyala musanvu bebavuddeyo okwegwanyiza okufuna kaadi ku kifo kino kyokka omu yekka yeyakaleeta empapula ze. 

“Offiisi yaffe nzigule eri abo bonna abaagala kaadi kubanga tulina akadde katono. Twagala okweddiza ekifo kyaffe era oyo yenna alina obusobozi ekibiina gwekinawa kaadi e Kavul,” Richard Kiganda sabawandiisi we KalangLa bwagamba. 

Ekifo kino kibaddemu Hellen Nakimuli eyafa sabbiiti ewedde. 

Tukitegedde nti bannakibiina ki NRM sibakudda mukamyuufu nga bakukekawo oyo eyavuganya mu kalulu akakaggwa. 

“Kandideti waffe teyakola bubi era yali wakubiri nga kino tekitulemesa kumukomyaawo kuvuganya era Aidah Nabayiga gwetuleesewo,” Sande Gerald Kayita sentebe wa NRM bwatutegezezza. 

Mubalala kuliko Hellen Flavia Naggawa nga aze bwanamunigina (Independent). Adrian Joy Matovu amyuuka sentebe wa DP ategezezza Bukedde nti bbo bakusimba kwoyo ekibiina ki NUP gwekinakwasa kaadi.