OMUWAABI wa Gavumenti, Jonathan Muwaganya afundikidde obujulizi bw'oludda oluwaabi mu musango gwa Okello okutta abaana e Ggaba, n'asaba kkooti emuwe ekibonerezo ekisingayo obukakali kubanga yatta abaana mu bugenderevu ng'ategeera bulungi.
Muwaganya okufundikira obujulizi bwe, kyaddiridde abajulizi ba Okello ababiri abaabadde basuubirwa eggulo ku Mmande obutalabikako ekyamulese ng'annyogoze!
Muwaganya yagambye nti, bannamateeka ba Okello tebawakanyizza nti waliwo abantu abaafa nga battibwa mu ngeri emenya amateeka. Okutta abantu n’ekigendererwa yagambye nti, kisobola okukolebwa n’ekissi nga mu mbeera eno waliwo ekiso, ekika ky’ebisago ng’ebyali ku baana abaasalibwa ensingo, era ebitundu by’omubiri ebyakosebwa zaali nsingo ekimu ku bitundu eky’okwegendereza ku muntu.
Oludda oluwaabi era lwakalambidde nti abajulizi be lwaleeta baakakasa bulungi nti Okello kye yali akola yali aketegeera era bwe yamala n’akasuka ekiso ng’amanyi bulungi ebiyinza okuvaamu ssinga kizuulibwa. Noolwekyo, enneeyisa ye nga tannazza musango n’oluvannyuma lw’okuguzza, biraga nti yakigenderera n’akitegeka okutta abaana.
Muwaganya yagambye nti, obujulizi bwabwe tebukakasa kya Okello kutta baana kyokka, wabula ne mu kifo awattirwa abaana yaliwo era ye yatta. Yayongeddeko nti, empale ya Okello yaliko omusaayi gw’abaana, ku kambe nakwo kwaliko omusaayi gw’abaana ne ku mukonda gwako, ekikakasiza ddala nti ye yakozesa akambe ako okutta abaana. Galubindi ze era nazo zaaliko omusaayi gw’abaana noolwekyo, ye yatta!
Nti era ne mu kwewozaako kwe kwonna, Okello teyeegaana kutta baana wadde agamba teyalina kigendererwa kubatta.
BANNAMATEEKA BA OKELLO NABO BAKALAMBIDDE
Kumbuga Mmande agamba nti amateeka galambika bulungi nti omuwawaabirwa kyamanyibwa nti alina obuzibu ku mutwe ng’omu ku bajulizi be bwe yategeeza kkooti.
Yagambye nti, amateeka galambika nti omuwawaabirwa alina okuba ng’akwatagana bulungi mu bwongo ne mu birowoozo n’alyoka avunaanibwa ku bikolwa bye. Yajjukizza nti, wakati wa 2016-2025 Okello yalina okusoomoozebwa kw’omutwe nga ffoomu ya poliisi eyaleeta (PF24) ate era yali ku bujjanjabi bw’e Butabika.
Dokita okuva ku C-care yabuulira kkooti nti mu December wa 2025 yakebera Okello nga mulamu, wabula yategeeza nti omuntu alina obulwadde bw’omutwe asobola okutuuka ekiseera n’avaako.
Mu kukwata Okello nga April 2, 2026, Kumbuga yagambye nti yatwalibwa ewa dokita wa Poliisi nga April 7, 2026 n’ategeeza nti yali ategeera bulungi. Okello era yatandika okubeera ku nguudo wadde yali musajja mukulu kyokka kyamanyibwa nti yalina ennyumba e Kyanja noolwekyo omuntu okulekawo amaka ge n’adda ku luguudo wabaawo obuzibu ku mutwe.
Yalemeddeko nti Okello okukwatibwa yalina eddagala erikkakkanya obulumi era omu ku bajulizi kino yakikakasa. Obujulizi era bwalaga nti Oklello yakola endagaano ez’enjawulo omuli ey’okupangisa ennyumba, okupangisa emmotoka era n’avuga wabula omujulizi w’oludda oluwaabi Dr. Emmanuel Nuwamanya yagamba nti, omulwadde w’omutwe bw’aba ateredde, asobola okuwandiika endagaano n’avuga n’emmotoka.
Kumbuga yagambye nti wakati wa January 1, ne April 2, 2026 tewali mukugu yabuulira kkooti nti mu kiseera ekyo yali mulamu katebule kyokka yammibwa obutuuze bwa Uganda kubanga yalina obulwadde bw’omutwe. N’agamba nti Okello mulwadde wa nnalubiri era obulumi bwe bayitamu n’eddagala lye bakozesa lisobola okubakosa emitwe. Yanokoddeyo ebbaluwa eyawandiikibwa minisitule y’ensonga za ssemateeka nti "Obubonero kuliko okwesesa, embeera ezitakwatagana, okugamba nti munyiivu ng’ate aseka bumu ku bubonero bw’abalwadde b’emitwe ng’ate ne Okello abaddenga atyetyemuka n’aseka mu kkooti.
N’agamba, asaana okwekebejjebwa omutwe. Yalemeddeko nti obujulizi bw’oludda oluwaabi bwali tebukwatagana kusingisa Okello musango nga sitetimenti ezimu ne lipooti z’abakugu tekwali mikono gyabwe ekitakkirizibwa mu mateeka.
Yayongeddeko nti, kkamera ze bagamba ezaakwata Okello teziraga feesi ye wabula kizikiza ekitategeerekeka.
N’agamba nti, tebaaleeta na yakuliramu okunoonyereza mu musango guno kubuulira kkooti bye yazuula, tebaleeta maloboozi kukakasa nti Okello ye yakozesa ssimu ye okukubira poliisi nga bwe baali bagamba.
N’akubira nti, okunoonyereza okw’ekibogwe teziba nsobi ezikolebwa wabula nkola eya wansi eviirako okusiba abantu abatalina musango, n’asaba kkooti esalewo ani yeenyigira mu butemu buno, eyimbule Okello.