EMMOTOKA, pikipiki n’amaduuka agatunda sipeeya wa mmotoka byatokomekedde
mu nnabbambula w'omuliro eyakutte galagi egambibwa okutundibwamu amafuta mu bukyamu.
Bino byabadde mu muluka gwa Makerere III mu Kibe Zone mu ggombolola y’e Kawempe. Mmotoka 7 okwabadde ekika kya Tata, Dyna, Fuso n’endala kwossa pikipki za Tuku-tuku bye byabengeye ne biggwaawo mu kiro era bangi abaabaddewo bakyantankana omuliro kwe gwavudde.
Embeera eno yawalirizza abatuuze n’abakozi abaalabye omuliro nga gutandika okuyita
poliisi y’e Kawempe n’ekola ku kuzikiza omuliro okutaakiriza emmaali yaabwe. Omu ku basuubuzi abakolera mu kifo kino yategeezezza nti ne gye buli eno tebannategeera omuliro guno kwe gwavudde wabula ne bennyamira olwa poliisi okubalemesa okutaakiriza emmaali yaabwe.
Kati mu kiseera kino tebalina kye baasigazizza era baagalabazirakisa okubadduukira kuba tebalina ntandikwa. Bwe twatuukidde mu kifo kino, twasanze poliisi y’abazimya mwoto ekola butaweera okulaba ng’ezikiza mmotoka ezaabadde ziteta kiyambeko omuliro obutasaasaanira makolero galiraanyeewo okwabadde ekkolero ly’amazzi elya Hema nga lino ennimi z’omuliro zaakomye ku bisenge. Mu mbeera eno abadduukirize nga bayambibwako bannannyini makolero, baagezezzaako
okutaakiriza omuliro guno nga bayambibwako poliisi okusobola okutaasa ebitundu ebirala.
Abatuuze bategeezezza nti ekifo kino wadde ng’ebadde galagi, babadde bakukusizaamu mafuta agatundibwa mu biddomola mu bumenyi bw’amateeka nga ge gateeberezebwa okuba nga gaaviiriddeko embeera eno era ekifo
kyonna kyabadde kisaasaniddemu amafuta agaakulukuse nga bazikiza omuliro. Nga bukedde, bannanyini maduuka n’emmotoka ezaatokomose, batuuseeko mu kifo kino okusobola okulaba emmaali yaabwe wabula kyabeewuunyisizza engeri emmaali yaabwe gye yaweddewo.
Baasabye bazirakisa okubayambako nga baasondera ku nsimbi baddemu bakole