Amawulire

Ebikwata ku kirwadde ekikambwe ekyasse omugagga w'amasomero n’aleka emmaali evuluuja

EKIRWADDE ekyasse omugagga w’amasomero ga Hormisdallen Schools, Ssalongo Hormisdasc Kizito Mukalazi 71, alese emmaali evuluuja kyasoose kulya bitundu by’omubiri eby’enkizo.

Nnamwandu Rita Mukalazi n’abooluganda nga baganzika ekimuli ku kkeesi bwe baabadde mu kkanisa mu Kisenyi. Mu katono ye mugenzi bw’abadde afaanana.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKIRWADDE ekyasse omugagga w’amasomero ga Hormisdallen Schools, Ssalongo Hormisdasc Kizito Mukalazi 71, alese emmaali evuluuja kyasoose kulya bitundu by’omubiri eby’enkizo.
Mukalazi yafiiridde mu ddwaaliro lya Kampala Hospital ku Lwokutaano, gy’abadde amaze wiiki ssatu ng’ajjanjabibwa ng’okufa kyadiridde okulumbibwa yinfekisoni enkambwe eya ‘Sepsis.’
Omu ku basawo b’omugenzi yasinzidde mu maka ge ku Ssande n’ategeeza nga Mukalazi bwe yafudde oluvannyuma lw’okulumbibwa yinfekisoni eno eyakosezezza amawuggwe, obwongo n’ekibumba.
Akulira eddwaaliro ly’e Nsambya, Dr. Andrew Ssekitooleko, yategeezezza nti yinfekisoni eno esinga kukosa abaana abato abali wansi w’emyaka etaano, abakadde abali waggulu w’emyaka 70, abantu ababeera balongooseddwa, abalwadde b’endwadde nga; ssukaali, nnalubiri, kookolo n’abantu abalwa ennyo ku ddagala.
Yayongeddeko nti, ssinga omuntu abeera alongooseddwa naddala ali mu ICU, ayanguyirwa okulumbibwa obuwuka buno era bunafuya ebitundu by’omubiri n’okunafuya omubiri obutasobola kulwanyisa ndwadde zigulumba.
Dr. Ssekitooleko agamba nti ssinga omuntu afuna obuwuka buno n’atayanguyirwa, kinafuya omutima gwe ekimuviirako okufa.
Abalala abasinga okukosebwa akawuka kano kuliko; abalwadde b’amawuggwe, abalumizibwa mu lubuto, abalina ebiwundu, obuwuka bw’omu musulo n’ebirala. Ssinga akawuka kano kasensera omubiri, omutima gusobola okufuna okwekanga ekiviirako okwonooneka kw’ebitundu by’omubiri oba omuntu okufa.
Nnamwandu Rita Mukalazi yasinzidde mu kusabira bba ku kkanisa ya Focus Christianity Centre e Mengo - Kisenyi n’ategeeza nga bba bw’atobye ennyo n’obulwadde buno kyokka nga bwasinga kumugonza nga bakomyeyo okuva mu Buyindi.
E Buyindi eno omugenzi yamalayo ekiseera nga bamujjanjaba era gye baamuzuulira nti ensigo ze zaali ndwadde, bwe batyo ne bamugyamu emu ne bamussaamu endala era n’alabika nga ateredde obulungi.
Mutabani w’omugezi omukulu, Dennis Kizito, naye yategeezezza nti, kitaabwe aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo kyokka okufa kwe kwavudde ku buzibu bwa mawuggwe.

Essomero lya Hormisdallen Gayaza nga bwe lifaanana okuva mu bwengula.

Essomero lya Hormisdallen Gayaza nga bwe lifaanana okuva mu bwengula.


ALESE EMMAALI EVULUUJA
Ng’oggyeeko amatabi g’amasomero ga Hormisdallen okuli ery’e Gayaza, Kamwokya, Kyebando ne Kiteezi, agabalirirwamu obuwumbi bwa ssente, Mukalazi alese ebyobugagga ebirala bingi mu bitundu eby’enjawulo.
Ensonda mu ffamire zaategeezezza nti, alese ensimbi enkalu eziri mu buwumbi ku akawunti kyokka nga tewali muntu mulala yenna abadde agirinako buyinza. Kigambibwa nti ssente zonna ezibadde ziva mu bizinensi z’enjawulo nga zigenda ku akawunti ze ng’omukono gwe gwokka gwe gukkirizibwa okuzikwatako.
EBYOBUGAGGA EBIRALA
l Alese amaka mu bitundu eby’enjawulo agatemya ng’omuntu, nga gano gatudde ku yiika ezisoba mu ttaano buli gamu.
l Ebibira gy’atema enku z’abadde akozesa ku masomero ge gonna.
l Ffaamu y’embizzi, enkoko, ebyennyanja ng’ono abadde akyogera lunye nti ayagala kuliisa Abachina abali mu Uganda yonna ennyama y’embizzi.
l Alese ensuku z’ebitooke ne gonja, emisiri gya muwogo, lumonde, kasooli n’ebijanjaalo. Abadde n’obusoboozi obuliisa abayizi n’abakozi ku masomero ge awatali kugula mmere, nga kino kye kimu ku bimuyambye okukuuma obugagga okumala emyaka egisoba mu 40.
l Obuagga bwe era bubadde butambulira mu ffamire ng’aliko aboolugnda bangi b’awadde emirimu mu kkampuni ze n’amasomero ge.
EBYABADDE MU KUMUSABIRA MU KISENYI
Omubiri gwa Mukalazi gwatuusiddwa ku kkanisa y’omusumba Dr. David Kiganda eya Christianity Focus Centre Mengo - Kisenyi nga gukulembeddwa bbandi.
Gwayaniriziddwa Bp. Kiganda ne mukyala we, omusumba Cindy Ssaako nnamwandu Nnaalongo Rita Mukalazi ne bamulekwa. Nnamwandu yafukamidde ku katuuti ne yeetondera abantu bonna bba be yasobya mu bulamu n’ategeeza nti, abadde omusajja ow’omutima omulungi ayagaliza era atalina kkonda ku muntu yenna, nti era bw’aba alina gwe yasobya, yakikola mu butanwa.
“Be yanyiiza mu butali bugenderevu, mbasaba mumusonyiwe,’’ Nnamwandu bwe yasabye.
N’asaba omusumba Kiganda okumwanjulira emirimu bba gy’abadde akola mu kkanisa gy’ayinza okuba ng’abadde tagimanyiiko ne yeeyama okugitwala mu maaso.
Yayogedde ku bba ng’abadde omusajja ow’enjawulo nga buli lunaku nga tannanafuwa ng’azukuka ku ssaawa 8:00 ogw’ekiro n’ateekateeka by’alina okukola mu lunaku nga tannava waka.
Yamwogeddeko ng’abadde n’enkola ey’okusiiba n’okwegayirira okw’enjawulo okumala ennaku 40, buli mwaka ng’asabira abayizi be n’amasomero ge naddala mu kiseera ky’ebigezo.
Bamulekwa nga bakulembeddwa Dennis Kizito, beebazizza nnyaabwe n'abantu bonna abayimiriddewo ku lwa kitaabwe mu bulwadde.
Ssentebe w'ekibiina omwegattira amasomero g'obwannannyinyi, Asadu Kirabira, yatenderezza Mukalazi olw’ettoffaali n'omusingi gwe yabasimira nga bannannyini masomero ssaako okubawabula n’okubalwanirira.
Ye omusumba Kiganda yakubirizza bamulekwa okukuuma obumu kibayambe okutwala mu maaso omukululo gwa kitaabwe ate n'okukola ennyo okwongera okugaziya bizinensi z’alese n’okwongera ku by’abalekedde.
Omusumba Wilson Bugembe ow’e kkanisa ya Worship House e Nansana yasekeredde abagagga abatassa kitiibwa mu Katonda nga beesiga obugagga bwabwe n’abasaba okulabira ku Mukalazi gwe yagambye nti, abadde mugagga naye ng’akulembeza Katonda.
Mukalazi aziikibwa leero ku Lwokubiri nga April 28, 2026, mu maka g’e Kagembe_- Ssemuto. Alese bannamwandu n’abaana abawerera ddala.