Amawulire

OKULONDA KWA LC1:Kabineti eyisizza obuwumbi 56

OLUKIIKO lwa Baminisita luyisizza obuwumbi 56 n'obukadde 900 ez’okutegeka okulonda kwa LCI nga kati Palamenti erindiriddwa okuyisa ssente zino.

Sipiika, Anita Among ng’akubiriza olutuula lwa Palamenti olumu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUKIIKO lwa Baminisita luyisizza obuwumbi 56 n'obukadde 900 ez’okutegeka okulonda kwa LCI nga kati Palamenti erindiriddwa okuyisa ssente zino.
Ssente zino zaakutegeka okuloda kwa bassentebe ba LC I ku byalo 70,626, bassentebe ba LCII ku miruka 10,717 n’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna era kwa kusimba mu migongo.
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kulung’amya eggwanga, Godfrey Kabbyanga yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Media Centre n’ategeeza nti Gavumenti yafunye ssente obuwumbi 56 n'obukadde 940 akakiiko k’ebyokulonda ze baasaba okutegeka okulonda.
Ekiseera kyonna Palamenti egenda kutuula eyise ennyongereza ya ssente olwo akakiiko k’ebyokulonda kalyoke kafulumye ennaku zennyini ez’okulonderako n’enteekateeka yonna mu bujjuvu.
Kabbyanga yagambye nti, minisitule y’ebyensimbi yalagiddwa okutegeeza akakiiko k’ebyokulonda mu butongole nga ssente bwe zaafuniddwa batandike okukola entegeka.
Ekisanja ky’abakulembeze abaliko kyaggwaako mu July wa 2023, ng’okuva olwo okulonda kwakongezebwayo emirundi mukaaga nga buli mulundi bongerayo ennaku 180 olw’ensimbi ezitabeerawoOkwongerayo okusembyeyo kulaga nti ekisanja ky’abaliko kiggwaako mu June wa 2026.
Omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Kamugisha yagambye nti, bulijjo babadde beetegefu, kyokka ng’ebbula lya ssente lye libasibye.Mu kiseera kino balinze kimu kuweebwa ssente olwo emirimu gitandike.
Bagenda kuwandiika abakozi 142,500 abagenda okweyambisibwa mu kulonda kwa L.C 1, L.C 11 n’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna.
Abakozi kuliko abagenda okutimba enkalala, okukakasa abalonzi, okulondesa, okulangirira ebivudde mu kulonda n’emirimu emirala mingi.
Mu kiseera kino, Gavumenti aba L.C 1 ne L.C II ebawa ensako ya 10,000/- buli mwezi naye nga minisita Magyezi yagambye nti bakola ku ky’okulaba nga zongerwako mu bajeti y’omwaka ogujja ogutandika mu July wa 2026.