Amawulire

‘Ebbeeyi y’amafuta ekyalinnya’

MINISTA w'amasannyalaze n'ebyobugagga eby'omu ttaka, Ruth Nankabirwa awadde Bannayuganda amagezi beesibe banywere kubanga ebbeeyi y'amafuta ekyeyongera okulinnya.

Nankabirwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISTA w'amasannyalaze n'ebyobugagga eby'omu ttaka, Ruth Nankabirwa awadde Bannayuganda amagezi beesibe banywere kubanga ebbeeyi y'amafuta ekyeyongera okulinnya.
Yategeezezza nti ebbeeyi kwe balongooseza amafuta mu nsi yonna yalinnye okuva ku ddoola ezibadde wakati we 2 ne 5 okutuuka ku ddoola 50 ate nga ne gye bagagula waliyo omujjuzo nga kiva ku lutalo lwa Iran ne Amerika.
Kakmpuni ya UNOC eguza Uganda amafuta nayo yategeezezza nti okutandika mu May 2026 egenda kugatundira ku bbeeyi eri ku katale k'ensi yonna. Ekitegeeza nti, bw’eneeba ekyali waggulu, ebbeeyi yaago yaakwongera okwekanama.
Yalabudde bakayungirizi abaviirideko ebbeeyi y'amafuta okupaaluuka nga bagakweka n’okugapakira mu bidomola ne bagatunda mu mawanga g’omuliraano nga Congo ku bbeeyi eya waggulu.
Omuze guno gulabikide nnyo mu distulikitti eziri ku nsalo era baakwataganye n'abeebyokwerinda okubega era abanaakwatibwa nga beenyigira mu muze guno kaakubajjuutuka.
Yagambye nti, Gavumenti ekoze pulaani eyingiza liita za petrol obukadde 163 mu ggwanga, eza diesel obukadde 200 n'ezamafuta g'ennyonyi obukadde 22, okutaakiriza ku bbeeyi y'amafuta ereme kupaala nnyo.
Kyokka yalaze amawulire amalungi aga Uganda okutandika okusima amafuta gaayo mu July 2026 nga bajja kutandika n'okutunda amafuta ga 'Crude'.
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa yasabye abavunaanyizibwa ku byamafuta g'eggwanga okwongeramu sipiidi eggwanga litandike okusima amafuta agaalyo.