ABAZADDE babiri abagambibwa okulagajjalira omwana ow'emyaka 4 n'attibwa mu ngeri etannategerekeka, poliisi ebakutte.
Abakwatiddwa ye Richard Kayongo ne mukyala we Agnes Nakibuuka abatuuze mu Muzigo B Cell mu division y'e Busimbi e Mityana nga kigambibwa nti babadde batulugunya omwana ono Madrine Nabbiira 5
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, ategeezezza nti omwana yabuze nti n'oluvannyuma ne bazuula omulambo mu nnimiro y'emmwaanyi ewamuliraanwa nga kuliko ebinuubule mu feesi ne ku mubiri.
Kigambibwa nti Nakibuuka aludde ng'atulugunya omwana era nga kirowoozebwa nti okufa kwe , kwavudde ku bazadde