Amawulire

Katikkiro alaze Buganda w’esibidde n’awa essuubi ku nsonga ez’enjawulo

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti ya Uganda empya egenda okulayizibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja okukulembeza okutumbula ebyenfuna, okukuuma obutebenkevu n’okutambulira ku mateeka ssaako okulwanyisa enguzi.

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng’ayogera eri Olukiiko lwa Buganda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti ya Uganda empya egenda okulayizibwa ku Lwokubiri lwa wiiki ejja okukulembeza okutumbula ebyenfuna, okukuuma obutebenkevu n’okutambulira ku mateeka ssaako okulwanyisa enguzi.
Mayiga yagambye nti, wadde ng’ebyenfuna bya Uganda bigenda bikula, n’omuwendo gw’abantu abali mu bwavu obuwunya bayitirivu nga wano weetaaga okuteekebwawo essira, abantu abo bave mu bwavu. “Gavumenti egezezzaako okukola enguudo okutumbula obusuubuzi naye enguudo ze yandikoze zandibadde ezo ezisangibwa mubitundu omuli abantu abangi era awali emirimu emingi.
Waliwo ebitundu bye mpitamu nga zikoleddwa bulungi kyokka ng’otambula ebbanga ddene nga tolina mmotoka gy’olabye,” Mayiga bwe yagambye.
Yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda olwatudde mu Bulange nga lwakubiriziddwa, Patrick Mugumbule ng'ayambibwako omumyuka we Hajji Ahmed Lwasa. Mu lukiiko luno Katikkiro Mayiga mwe yalambululidde Obuganda embeera nga bw’eyimiridde mu
Bwakabaka n'ebintu eby’enjawuloBuganda w’esibidde. Ku nsonga y’obutebenkevu, Mayiga yasabye Gavumenti okukomya enkola y’okuwambira abantu mu mmotoka ezaakazibwako erya ‘drone’ ne batwalibwa mu bifo ebitamanyiddwa n’agamba nti, ku
mu  embe guno, ebikolwa bwe biti tebisaanye kulabibwako.
Yeekokkodde vvulugu eyeetobeka mu kulonda kw’abakulembeze okwali mu kalulu n’asaba Gavumenti okuyimbula abantu bonna abaasibwa olw’emisango gy’ebyobufuzi okugeza Eddie  Mutwe n’abalala okwongera okuleetawo emirembe mu bantu ssaako okusaba abantu mu kiseera kino ng’ebyobufuzi nga bwe bimaliriziddwa, essira liteekebwe ku buweereza.
Yavumiridde enguzi efung'amye mu ggwanga n'asaba ebitongole bya Gavumenti
okwongeramu amaanyi mu lutalo lw'okugirwanyisa.
EBBANJA LYA MMENGO
Mu ngeri y’emu Obwakabaka bubanja Gavumenti eya wakatiensimbi ezisukka obuwumbi 500. Zino ezze ezisasulako  naye Mayiga yagambye nti, ekiseera kituuse, eyongere okusasula Obwakabaka bukole emirimu Kabaka gye yabatuma okukola.
Obwakabaka buli mu bweraliikirivu n’ebbago erikwata ku bwetengereze bwa Uganda eriri mu Palamenti nga singa lisigala nga bwe liri, Mayiga yagambye nti, lya kukonzibya emirimu gy’Obwakabaka okuli oluwalo, amakula, n’obuyambi obuva ebweru bwatyo n’asaba Gavumenti eriggyewo kuba tewali bwetaavu bwalyo, amateeka agaliwo ge  gabeera gakozesebwa.
Ku ky’okugoba abantu obutakolera ku nguudo z’ebibuga, Mayiga yagambye nti, kino kyetaagako enkola eng’enderere nga Gavumenti eteekateeka ebifo abali mu busuubuzi buno we bayinza okukolera emirimu gyabwe n’awa ekyokulabirako ky’eggwanga ye Thailand gye bategeka obulungi abakolera ku nguudo.
Katikkiro yakiggumizza nti, kirungi ebibuga okutegekebwa obulungi, buli kiti ky’abantu we bakolera nga walambikiddwa  so si buli omu kusanga wonna w’ayagala nga w’akolera emirimu gye ate n’asaba emisolo emingi egitegekebwa okuleetebwa Gavumenti gibeere nga tegyewanika ate n’egyoegibeera gikung’aanyiziddwa okukozesebwa mw’ebyo ebiganyula abawi b’omusolo.
Ku mbeera y’Obwakabaka, Mayiga yabuulidde abakiise nti, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyali ali mu mbeera nnungi ng’azze alambula ebitundu eby’enjawulo mu Bwakabaka bwe era n’asaba yonna gy’anaddamu okutuuka bamwanirize n’essanyu ssaako ekitiibwa ekisaanira.
EBITEESO BY'OLUKIIKO
Olukiiko lwayisizza ebiteeso mwenda okwabadde okuyozayoza Kabaka okuweza emyaka 71, abakiise okusanyukira n’okwaniriza okwogera kwa Katikkiro ku mbeera nga bw’eyimiridde mu Buganda, okuyozaayoza Mayiga okuweza emyaka 13 nga ye Katikkiro wa Buganda n’okwaniriza enkola ya situla omutindo eruubirira okulungiya enkola y’emirimu mu Buganda. Mu birala mulimu; okuvumirira enkozesa y’akaveera ate n’okweyama okuteekawo enkola ezinaakuuma ettaka n’obutonde, okuwagira Katikkiro okugenda mu maaso n’okubanja Gavumenti ensimbi z’Obwakabaka, okuvumirira enkola y’abeebyokwerinda okukwatira abantu mu mmotoka ezaakazibwako erya ‘drone’, Katikkiro okugenda mu maaso n’okusaba Gavumenti okulwanyisa enguzi ate n’okuvumirira ebbago ly’obwetengereze Gavumenti ya wakati ly’eyagala liyite mu Palamenti.
OLUKIIKO LUKUNGUBAGIDDE LOOYA MULIRA
Mayiga yasaasidde Obuganda olw’okufa kw’eyali minisita w’Amasiro n’obuwangwa mu Buganda, Peter Mulira eyavudde mu bulamu bw’ensi ku Lwokutaano May 1, 2026.
Mayiga yamwogeddeko nga omuntu owa bwiino naddala ku nsonga ezikwata ku ttaka ate n’amateeka. Mulira abadde n’Oluganda ku Kabaka kuba nnyina Rebecca Mulira, muwala wa Ham Mukasa wamu ne  Victoria Nalwanga ng’ono y’azaala Namasole Sarah Nalule azaala Kabaka.
Omubiri ogw’omugenzi Mulira leero gutwalibwa mu Lutikko e Namirembe okusiima emirimu gy’akoze n’oluvannyuma aziikibwe ku Lwokusatu e Gayaza e Masaka mu Buddu.