ABANTU Mukaaga abagambibwa okuba abamenyi b'amateeka, babakwatidde mu bbaala emu e Rukungiri nga befuula abagenze okunywa omwenge.
Babasanze mu emu ku ku bbaala ku Court road mu kibuga ky'e Rukungiri era ne babaggalira ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Abakwatiddwa, kuliko Agness Nayamba 21, Jomitom Amazing 18, Ronald Asiimwe 28, Laban Orikiriza 34 , Ibrahim Sasirabo n'omulala.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi , Elly Maate, agambye nti abakozi mu bbaala eyo, be basoose okubeekengera ne batemya ku poliisi ebayodde.