SSENTEBE w’abaana b’abalwanyi mu ggwanga, Muwada Namwanja asabye Pulezidenti Museveni ku mulundi guno okutunuulira abantu abatali babaka ng’alonda baminisita mu kisanja ekipya kiyambe ebitundu eby’enjawulo okuganyulwa ku keeki y’eggwanga.
Muwada yagambye nti ababaka bangi bafuuliddwa baminisita kyokka abasinga ne bafa ku bifo gye bakikirira olwo ebitundu ebirara ne bitafunamu mumpereza z’eggwanga ez’enjawulo.
“Baminisita abalondeddwa okuva mu babaka buli lwebatuuka ewa Pulezidenti, bamubuulira bizibu byabwe ng’abantu ssaako ekifo gye bakikirira, olwo abantu mubifo ebirara nebatafunamu ate nga minisitule ekolera ggwanga lyonna.” Muwada bweyayongeddeko.
Yagambye nti kyewunyisa okuba ng’ebitundu ebimu ebitaliimu bizinensi z’amaanyi ate enguudo n'ebirala bikulakulanye, kyokka disitulikiti endala okuli ne Wakiso nga zirimu emirimu egy’enjawulo ng’embeera ekaabya okusingira ddala enguudo n’amalwaliro.
Muwada yagambye nti bannabyabufuzi bangi obubaka bwa paalamenti babufudde mulimu, nga mukino oli bw’akozesa akawumbi ka ssente mukunoonya akalulu, tasobola kusakira bannayuganda okureka okufuba okulaba ng’akomyawo ssente zeyatekamu.
Yasabye Pulezidenti Museveni okutunuulira kuba RDC ng’alonda ba minisita kuba bakoledde mubitundu eby’enjawulo ate nga bano ssibannabyabufuzi kye yagambye nti tebajja kubaamu mbeera ya kwenonyeza byabwe nga bawereza abantu.
Muwada era yalaze okunyolwa olw’omuwendo gw’ababaka oguli mu paalamenti, kye yagambye nti nakyo kiviriddeko ssente y’omuwi w’omusolo okwononekera mubantu ab’olubatu olwo abalala nebatafibwako.
Yagambye nti olw’okuba eby’obufuzi babifudde mulimu, bannabyabufuzi buli lukya bagamba nti ebitundu byabwe binene nnyo nga byetaaga kusalwamu, nti olwo kibayambe okwesimbawo bagende mu paalameti balye.
Yayozayozezza nnyo Pulezidenti Museveni olw’okuddamu nalondebwa era namwebaza okutereeza eby’okwerinda ssaako okukuuma empisa mumagye ekiyambye abantu okutandika okugenyumirizaamu.
Yasiimye n’omuduumizi w’amagye mu ggwanga, Gen Muhoozi Kainerugaba olw’okutekesa empisa mubannamagye ssaako okulwanyisa obuli bw’enguzi mubitongole by’eggwanga eby’enjawulo