OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke agambye nti ebyokwerinda wonna binywezeddwa era nga buli muntu yenna ayingira e Kololo wakusooka , kwazibwa.
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, ajja kuba alayizibwa okuddamu okukulembera eggwanga ku Lwokubiri, era nga lugenda kubeera lunaku lukulu. Abagenyi abebitiibwa bangi n'abakulembeze b'amawanga ag'enjawulo, basuubirwa okwetaba ku mukolo.
Kituuma annyonnyodde ng'entambula ku nguudo ezimu, bw'egenda okuba ng'etaataganyizibwamu olw'abagenyi abakulu betunabeera nabo mu ggwanga. Anokoddeyo oluguudo lwa Nothern by Pass, oluva e Munyonyo, Yesufu Lule rd n'endala.
Ategeezezza nti ezimu ku nguudo eziyingira e kisaawe ky'e Kololo , zakuggalwa okusobozesa abagenyi abakulu era abayite , okuzikozesa obulungi
Asabye abantu okukolagana obulungi n'abasirikale ba poliisi y'ebidduka n'okukuuma empisa ku nguudo.