Amawulire

Poliisi erabudde abantu okwewala effujo mu kulayiza Pulezidenti Museveni

NGA twetegekera ebikujjuko by'okulayiza omukulembeze w'eggwanga ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, poliisi erabudde abantu okwewala ebikolwa eby'efujjo .

Poliisi erabudde abantu okwewala effujo mu kulayiza Pulezidenti Museveni
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

NGA twetegekera ebikujjuko by'okulayiza omukulembeze w'eggwanga ku Lwokubiri lwa wiiki ejja, poliisi erabudde abantu okwewala ebikolwa eby'efujjo .

Bategeezezza nti ebitongole by'okwerinda nga bikolaganira wamu, bikola butaweera okulaba ng'omukolo gukolebwa mu mirembe nga tewali bikolwa bikyamu wadde okutaataganya.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, annyonnyodde nti abasirikale bayiiriddwa mu bungi abali mu yunifoomu ne mu ngoye ezabulijjo, okusobozesa abantu okutambula obulungi n'okusanyuka, nga tewali abakuba ku mukono.

Annyonnyodde nti abasirikale basiddwa ku mmotoka ennawunyi, pikipiki , n'abebigere nabo bangi, nga balawuna n'okutalaaga ebifo eby'enjawulo okusobola okukuuma emirembe era n'asaba abo bonna ababeerako ne kyebekengedde, okutegeeza poliisi nga bukyali.