Poliisi e Mukono eri mu kuyigga abazigu abalumbye essundiro ly'amafuta n'abatusaako obulabe nabba ssente.
Bibadde ku ssundiro ly'amafuta erya Stabex e Kisoga mu disitulikiti y'e Mukono, abazigu bwe balumbye ekifo ekyo ku ssaawa nga Mwenda nga bukya ne babatusaako ebisago ebyamaanyi ne babba shs 350,000/ ne babulawo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti abasirikale bombi bawereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago ng'omuyiggo gugenda mu maaso