Amawulire

Bannannyini makampuni basabye abakozi baabwe okwongera omutindo ku byebasomye

ABAKOZESA basabye abakozi  okweyongerako omutindo ku byebasomye baasobole okufuna akatale n’obuganzi mu nsi y’emirimu.

Abakozesa nga boogeraganya n'abayizi ba ISBAT
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

ABAKOZESA basabye abakozi  okweyongerako omutindo ku byebasomye baasobole okufuna akatale n’obuganzi mu nsi y’emirimu.
Baabadde baasinsikanye abayizi ba univasite ya ISBAT abali mu mwaka gwabwe ogw’akamalirizo mu kikujjuko  kyabwe ekya Job Portal,  omukutu gw’okumutimbagano ogukozesebwa okunoonyeza abayizi abamaze emisomo emirimu wano n’ebweru w’eggwanga, ekyatandikibwawo univasite eno  mu 2024.

Abeetabye mu bikujjuko bya Job Portiol

Abeetabye mu bikujjuko bya Job Portiol


Omugenyi omukulu  Milton Steven  Owore akulira abakozi (Head People and Culture)mu kitongole ky’abakozi ekya NSSF, asabye abayivu  okweyongerako omutindo naddala mu bya tekinologiya kubanga kati ensi kwetambulira, kyagamba nti kijja kwongera omutindo ku buyigirize bwabwe bayayaanirwe mu nsi y’emirimu neyeebaza ISBAT olweteekateeka eno.
Naasaba abantu okujjumbira okutereka ku ssente zebakola  zisobole okubayamba mumaaso, n’ategeeza nti kati NSSF ereese  enkola nyingi okuyambako abantu okutereka, abasomye n’abataasoma abali mu mirimu gya lejja lejja, ate nga ssente zaabwe bwezibakolera amagoba. 

ABAYIZI b'omwaka gwakamalirizo ku ISBAT Univasite nga bawuliriza ebiva mu bakozesa

ABAYIZI b'omwaka gwakamalirizo ku ISBAT Univasite nga bawuliriza ebiva mu bakozesa


N’awabula abakozi  okweyisa obulungi, nti kubanga empisa ku mirimu gyebalaga kikulu okubawangaaliza ku mirimu ate n’okubasitula okutuuka ku madaala ga waggulu gebetaaga.
Akwasaganya ensonga z’abayizi (academic registrar) ku ISBAT Univasite,  Dr Paul Giju ategeezezza nti, baateekawo enkola eno okutuusa obusobozi bw’abayizi baabwe eri abo ababwetaaga, nga  bakolagana n’ebitongole n’amakampuni ebisukka mu 500 okwetoloola eggwanga lyonna, okulaba nga babafunira emirimu  wano n’ebweru w’eggwanga.

Milton Steven Owore ku kkono head people and Culture mu NSSF ate ku ddyo ye Dr Paul Giju academic registra wa ISBAT univasite nga boogerako eri abayizi ku byemirimu

Milton Steven Owore ku kkono head people and Culture mu NSSF ate ku ddyo ye Dr Paul Giju academic registra wa ISBAT univasite nga boogerako eri abayizi ku byemirimu


Akulira ekitongole kya  National Chamber of Commerce Olive Kigongo abadde akiikiriddwa Steven Joseph  Mpagi Kalibbala, yeebazizza ISBAT univasite olwentegeka eno, n’ategeeza nti, ekimu ku bizibu mu ggwanga kati  ly’ebbula ly’emirimu mu bavubuka abasomye nti kale omukutu guno gwakuyambako nyo.
N’akuutira abayizi okweyongerako omutindo okuva ku byebasomye basobole okuyayaanirwa. N’ategeeza nti Portal eyamba okusengejjja abayizi,  omukozesa naasobola okufuna abakozi abatuufu awatali mize gya kuggyako banoonya mirimu nguzi. 

Dr Paul Giju academic Registrar ISBAT Univasite

Dr Paul Giju academic Registrar ISBAT Univasite


Akulira abakozi (Head People and Culture) mu Pride Bank Miriam Icheru ategeezezza nti, enkola eno eziba omuwaatwa ogubadde wakati w’abakozi n’abakozesa,  nga kati abayizi bategedde ekyetaagisa mu nsi y’emirimu.
Amyuka cancala wa ISBAT univasite Pulof Mathew Kattampackal  ategeezezza nti,  wabaddewo eddibu ddene wakati w’abakozi n’abakozesa,  nga ye nsonga eyabaleesa omukutu guno ogubakwanaganya okuziba eddibu eryo.
Oluvannyuma abakozesa boolesezza ebikolebwa n’okukwatagana n’abayizi nebababuulira ebyetaagisa mu nsi y’emirimu