Amawulire

Trump ne Iran basemberedde okukutula ddiiru y’okuggula akagolomolo

PULEZIDENTI wa America Donald Trump awadde ensi yonna essuubi ly’olutalo lwa Iran okukomekkerezebwa n’okuggula akagolomolo k’e Hormuz bwe baategeezezza nti, enteeseganya zituuse ku mutendera ogusembayo .

Trump
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI wa America Donald Trump awadde ensi yonna essuubi ly’olutalo lwa Iran okukomekkerezebwa n’okuggula akagolomolo k’e Hormuz bwe baategeezezza nti, enteeseganya zituuse ku mutendera ogusembayo .
Mu bubaka Trump bw’atadde ku mukutu gwe  ogwa ‘Truth Social’ yagambye nti,n obuwaayiro butono obukyattaanyizibwa era abakugu bali mu kubwekebeggya.
Amawulire agagenda okuwa ensi yonna essanyu galangirirwe amangu ddala.
 Yagambye nti, okugatta ku byonna ebiteesebwaako mu kukola endagaano y’emirembe, akagolomolo ka Straits of Hormuz kagenda kuggulwa. Trump yagambye nti, yayogedde n’abakulembezen b’amawanga ag’enjawulo okuli aba Soud Arabia, Qatar, United Arabn Emirates, Pakistan ababatabaganya, Turkey, Egypt, Jordan, Bahrain ne bamusaba nti,n taddamu kusitula nnyonyi n kukuba Iran era naye yabawulirizza.
Yagambye nti, yayogedde ne katikkiro wa Israel, Benjamin Netanyahu ku nsonga ze zimu ku ssimu ey’enjawulo buli omu ng’ayaayaanira mirembe era bakkiriziganyizza bulung ku kuzza emirembe mu kitundu. Eggulo, Minisita wa Amerika ow’ensonga ez’ebweru, Marco Rubio yategeezezza bannamawulire bwe yabadde ku bugenyi mu ggwanga lya Buyindi nti, waliwo amawulire amalungi agasuubirwa amangu ddala ku kukomya olutalo lwa Iran akagolomolo kasobole okuggulwa. Yalaze nti, mu ssaawa ntono eggwanga ligenda kufunan essanyu ng’amawulire amalungi galangiriddwa era asuubira nti, bigenda kubeera nga Pulezidenti Trump bwe yabisuubira. “Ensi tesaanidde kweraliikirira wadde okusattira nti, olw’emmundu zinnamutta eza nyukiriya wa Iran”, Rubio bwe yagambye.
Omukutu gw’amawulire ogwa Associated Press gw’alaze nti, omu ku bakungu asemberedde awali enteeseganya zino yategeezezza nti, olutalo lugenda kuggwa kubanga obumu ku bukwakkulizo naddala okukomeza ddala olutalo mu bbanga lya  myezi ebiri ne Iran okukomya okuweesa emmundu za nyukiriya byawedde kati balina  butono bwe battaanya. Nga Trump tannaban kulangirira n’eggwanga lya Irann lyakisiinyizzaako nti, olutalo lusemberedde okugwab nti, wakyaliwo obuwayiron butono nnyo akagolomolom kaggulwe..
Tivvi y’eggwanga lya Iran yalaze omwogezi wa minisitule y’ensonga ez’ebweru Esmail Baghaei ng’agamba nti, enteeseganya zigenda bulungi era zisemberedd okuggwa mu mirembe olutalo lukomezebwe ku njuyi zombi olwa America ne Iran. Baghei yagambye nti, ekiseera kino amaanyi bagatadde ku kukomya lutalo mu mirembe era enteeseganya
tezikwata nnyo ku kukola nyukiriya. Nti baagala olutalo lusooke lukomezebwe, akagolomolo kaggulwe oluvannyuma badde ku kuteesa ku nyukiriya.
 Trump yakakasizza nti, akyayimirizzaamu ku kulwana olw’enteeseganya ezirabika nti, zigenda bulungi.
Olutalo lwatandika mu Febuary 28, 2026, Trump bwe yalagira ennyonyi z’America okulumba ne zikuba Iran nga bwe ziyambibwako eza Israel. Kyokka ne Iran ebaddeb ebaddiza n’etwaliramu n’amawanga g’Abawarabu amalala agakolagana ne America era
ekyondo kyonna kibadde kisaasaaniddwa olutalo luno ne luvaako n’ebyenfuta okutabuka.