ABANTU basatu bazuuliddwaamu obulwadde bwa Ebola, minisitule y’Ebyobulamu n'esaba Bannayuganda okwongera okubeera obulindaala.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule eno, Dr. Diana Atwine yasinzidde mu lukung’aana olwetabiddwaamu abakugu okuva mu Uganda, DRC ne South Sudan n'ategeeza nti, abantu basatu baakakasiddwa nga balina Ebola mu Uganda.
Yagambye nti, abalala abaazuuliddwaamu Ebola kuliko munnansi wa Congo, abalala Bannayuganda ng'omu musawo eyajjanjaba omuntu eyasooka okuzuulibwamu Ebola ate owookusatu ye ddereeva eyavuga omuntu y’omu. Atwine (mu katono) yagambye nti, munnansi wa Congo omukyala, yayingira dda mu ggwanga ng’ava e Bunia, kyokka yasooka kubeera mu Arua n’oluvannyuma n’aleetebwa mu ddwaaliro ly’obwannannyimi mu Kampala.
Nti ono mu kuva mu Arua yakozesa nnyonyi ya bwannannyini era Ebola bwe yalangirirwa, payirooti eyamuvuga kwe kutuukirira minisitule n’agitegeeza. Ono yakolagana ne minisitule ng’akozesa ebiwandiiko omukyala ono bye yamuwa ng’alinnya ennyonyi era ne bamuzuula mu ddwaaliro lye yali ajjanjabirwamu.
BASAZE ENTOTTO OKUTANGIRA OBULWADDE BUNO
Abavunaanyizibwa ku byobulamu mu Uganda, DRC ne South Sudan abaatuuziza olukung’aana olw’amangu e Munyonyo ku ngeri gye banaatangira okusaasaana kwa Ebola mu mawanga gonsatule. Atwine yagambye nti, baasazeewo okwongera okunyweeza ebyokwerinda ku nsalo z’amawanga gano ng’abantu abava mu ggwanga eriri mu bulabe tebakkirizibwa kuyingira mu ggwanga ddala.