ENKAAYANA n’okusika omuguwa bisituse buto ku ttaka erikaayanirwa e Masajja Kibira Cell B wakati w’abaana mu ffamire y’omugenzi Wilson Kanaabo n’aba ffamire ya Emmanuel Mubiru Mayanja. Ffamire ya Kanaabo balumiriza Grace Namayanja owa ffamire ya Mayanja okwagala okwezza ettaka lya kitaabwe.
Ffamire ya Kanaabo ng’ekulembeddwa nnyaabwe, Sarah Namyalo Kanaabo, bagamba nti, bali mu kutya olw’okutiisibwatiisibwa nti ssinga tebava ku nsonga z’ettaka lino. Kuno baagasseeko okubasendera ebirime byabwe.
Sarah Kanaabo agamba nti, bba yafa mu 1990 wabula ettaka lino abaana ba Mayanja lye bakaayanira, yabaleka bakolerako ebintu byabwe nga kwaliko ne ffaamu nga n’okutuusa kati kwe babadde balimira.
Omu ku baana ba Kanaabo, Beatrice Nazziwa yagambye nti, enkaayana zino zaatandika mu June 2025, oluvannyuma lw’okufuna ebbaluwa eyava ewa munnamateeka ku kakiiko k’ettaka mu maka g’Obwapulezidenti, Nathan Bwogi ng’ebalagira okweyanjula e akasero okwongera okunoonyereza ku ttaka erikaayanirwa nti kuliko ebintu by’omugenzi Mubiru Emmanuel Mayanja.
Mu bbaluwa eno mwalimu nti omugenzi Mayanja yafuna ekibanja kya yiika bbirim okuva ku Joyce Lwasa mu 1983 n’akikoleramu wabula n’afa mu 1984, olwo ffamire ye n’ekikozesa.
Oluvannyuma ffamire ya Kanaabo yatandika okwesenza ku kibanja kino n’okusalamu ebitundutundu nga baagala kutundawo. Wabula ffamire ya Kanaabo yagambye nti, enfunda nnyingi aba famire ya Mayanja bazze babakwata ne babatwala ku poliisi nga babalanga okusaalimbira ku ttaka lino bo lye bagamba nti lyabwe.
Bazze baggulawo emisango ku poliisi e Katwe ku ffayiro nnamba SD: 69/04/05/2026.
ABA MAYANJA BYE BAGAMBA
Grace Namayanja gwe balumiriza okubatulugunya yagambye nti, ekibanja aba Kanaabo kye bakaayanira, taata we omugenzi Mayanja yakigula mu 1983 ku Joyce Lwasa wabula kyali kumpi n’ekya ffamire ya Kanaabo era baali baludde nga bakikozesa.
Yagasseeko nti, kitaawe yabaleka bato olwo ffamire ya Kanaabo n’ekozesa olukujjukujju okwagala okubanyagako ekibanja kyabwe.
Ssentebe wa LC I, Masajja Kibira Cell B, Wasswa Lwandagga yagambye nti, ensonga zino zaatuuka mu ofiisi, nnamwandu Sarah Kanaabo bwe yagendayo n’abaana be era n’abaana b’omugenzi Mayanja nabo baamutuukirira. Yagambye nti, Sarah Kanaabo yamwanjulira abaana ba Mayanja
ababiri be yagenda nabo n’amugamba nti baana ba mulamuwe eyafa era balinako ekitundu ku ffaamu ya Kanaabo era baagenda ne balambula ekifo ekyo. Agamba, enkaayana zirudde okutuusa akakiiko lwe kaafuna ebbaluwa okuva mu maka g’Obwapulezidenti okugenda mu ofiisi ya Nathan Bwogi n’ebbaluwa endala okuva ewa RDC n’endala okuva mu bitongole by’ebyokwerinda.