EYALIKO omumyuka w'akulira Uganda Martyrs University awadde abayizi abamalirizza emisomo gy’obusawo okwewala eby’okwejalabya by’agamba nti byandibaggya ku mulamwa.
Faaza Polof. JC Maviiri nga ye yayimbye mmisa eyakulembeddemu emikolo gy’amatikkira ku ttendekero ly’abasawo erya St. Francis Schools of Healthy Sciences Namataba Mukono, yagambye ti eggwanga lino lifumbekeddemu obulyake lwa bakungu kwagala kwejalabya ne bava ku kigendererwa ky’obuweereza.
'Weewuunye si kya nkiso mu kiseera kino nti Palamenti eri mu kunoonyerezebwako ku bya nguzi' Polof. Maviiri bwe yayongeddeko.
Abayizi abasoba mu 500 b baamalirizza emisomo gy’obusawo ku mitendera gya satifikeeti ne dipulooma era baakwasiddwa amabaluwa wakati mu mizira egiva mu bazadde abangi abaabaddewo ku mukolo.
Yagasseeko nti mu kiseera kino eggwanga lyetaaga abakulembeze abatya Katonda tuwone obulyake obufiirizza eggwanga bakontulakit ne batuuka okuzimba ebizimbe
ebikuba abantu n’enguudo ze bateekako kkoolasi akuluggusibwa mukoka mu kaseera nga zaakamala okukolebwa.
Omu ku batandisi b'essomero P.K Bbosa, yeebazizza abazadde olw’okubawagiranga buli kiseera ne babawa abayizi abangi bwe batyo mu ttendekero lyabwe. Yategeezezza nga minisitule bwe yabawa edda olukusa lw’okufulumyanga abayizi ku mutendera gwa diguli era nga kino baamaze dda okukitandikako mu nsoma ezinaddako