Amawulire

Museveni asabye abakulembeze b’ennono ku kulwanyisa obwavu

Museveni asabye abakulembeze b’ennono ku kulwanyisa obwavu

Polof. Muhammad Ndawula ng’akola emikolo ku Kamuswaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Museveni ajjukizza Abakooki akussa amaanyi mu kulima emmere emala n’okulunda kyongere ku nfuna yaabwe mu maka ne mu bitundu mwe
babeera. Mu bubaka bwe yatisse minisita omubeezi ow’ebyensimbi avunaanyizibwa
ku Microfinance, Harunah Kasolo ku matikkira ga Kamuswaga wa Kooki, Apollo
Isansa Kabumbuli II Lwampanja ag’omulundi ogwa 22, Museveni yasabye Kamuswaga okulemberamu Abakooki okulwana ku lutalo lw’obwavu ng’ayambibwako Gavumenti ya NRM.
Amatikkira g’omulundi guno gaabadde mu Rakai Town Council ng’Abakooki okuva magombolola g’Obwakamuswaga bangi babaddewo okubugiriza. Minisita Kasolo yakwasizza Kamuswaga ettu lya bukadde bw’ensimbi 20 okuva ewa Pulezidenti Museveni.
Kamuswaga yasabye Gavumenti okukola ku bizibu ebiruma Abakooki omuli amazzi amakyafu, enguudo embi n’ebirala n’okukkiriza obuvo n’obuddo bw’Abakooki. Amyuka RDC wa Rakai, Eddy Mwanje yeebazizza Abakooki olw’okwagala Gavumenti ya NRM kyokka n’abajjukiza nti kino ekisanja teri kwebaka nga kw’otadde n’okulwanyisa enguzi efumbekedde mu ggwanga.