Amawulire

Abayizi mubeere bawulize - Mubajje

MUFTI Shaban Ramadhan Mubajje awadde abayizi abaagala okutuuka ku buwanguzi amagezi okutya Allah, okubeera abawulize n’okugondera bakadde baabwe n’abasomesa bye bijja okubayamba ku bye baagala.

Mufti Mubajje (wakati) ng’asala keeki n’abamu ku bakungu ne bamasheikh abalala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUFTI Shaban Ramadhan Mubajje awadde abayizi abaagala okutuuka ku buwanguzi amagezi okutya Allah, okubeera abawulize n’okugondera bakadde baabwe n’abasomesa bye bijja okubayamba ku bye baagala.
Yasinzidde mu kuggulawo omuzikiti n’okutikkira abayizi abaamazeeko pulayimale ey’enzikiriza y’Obusiraamu ku ssomero lya Abusha e Bombo mu Luweero n’ategeeza nti ebitundu n’eggwanga ebirimu eddiini bibukala emirembe.
Abaatikiddwa yabasabye okweyongerayo ku madaala aga waggulu basobole okutangaaza
ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Abazadde yabasabye okuwagira amasomero g’Obusiraamu n’asiima abasomesa abatakulembeza musaala ne bafaayo okusomesa abayizi ne bayita bulungi.
Mubajje era yasabye abantu okugondera amateeka g’abasawo mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola. Omukolo guno gwetabiddwaako Regional District Khadi wa East Buganda, Sheikh Mustafa Lule, District Khadi wa Luweero, Sheikh Ramadan Mulindwa n’abalala abaagambye nti Abasiraamu mu kitundu kino bali bumu.