Amawulire

Abatunda ebigimusa n’eddagala ly’ebirime bakaaba emisolo

ABAKOLA ebigimusa n’eddagala erifuuyira ebirime n’abalituusa kuno, beekubiddeomulanga olw'emisoloegyongedde okubinikibwa ku bintu bino ekiviiriddekoebbeeyi kwe babiguliza abalimi okulinnya.

Kominsona avunaanyizibwa ku birime, Dr. Paul Mwambu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKOLA ebigimusa n’eddagala erifuuyira ebirime n’abalituusa kuno, beekubidde omulanga olw'emisoloegyongedde okubinikibwa ku bintu bino ekiviiriddeko ebbeeyi kwe babiguliza abalimi okulinnya.
Bawanjagidde Gavumenti ekoppe Gavumenti y’e Kenya ku nsonga z’ebyobulimi kuba
yo emisolo nga gino baagiggyawo, y’ensonga lwaki ebirime ebivaayo biba bya bbeeyi
ntono okusinga ebya kuno. Baasinzidde mu lukung’aana olwatuumiddwa 'Crop life Uganda’ mu Kampala nga lwetabiddwaamu abali mu byobulimi mu mawanga 18 ku lukalu wa Afrika.
Omukugu mu byobulimi okuva mu kitongole ekya Crop Life Uganda, Agnes
Mbabazi agamba nti, bandyagadde abalimi bettanire ebigimusa bya kuno naye tebiriimu kiriisa kimala sso ng’ate bye baggya ebweru n'eddagala erifuuyira ebirime byassibwako emisolo gya bitundu 2.5 ku 100 ekibiviirako okuba eby’ebbeeyi. Mbabazi agamba nti,
olw'okuba ebbeeyi y'eddagala ettuufu eri waggulu, kiwa omwagaanya abacupuzi olwo
ne balifulumiza ku bbeeyi eya wansi abalimi ne balyetanira  ekikosa ennimiro zaabwe.
“Gavumenti esaana esseewo ebibonerezo ebikakali eri abacupuzi b'eddagala," Mbabazi bwe yagambye