Amawulire

Pulezidenti Museveni akubirizza abantu obuteekwata mu ngalo okulwanyisa ebola

PULEZIDENTI Museveni alabudde bannayuganda okwewala okwekwata mu ngalo basobole okulwanyisa okusasaana kw’obulwadde bwa Ebola  mu ggwanga.

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abakungu okuva mu kitongole kyebyobulambuzi
By: Sarah Zawedde, Journalist @New Vision

PULEZIDENTI Museveni alabudde bannayuganda okwewala okwekwata mu ngalo basobole okulwanyisa okusasaana kw’obulwadde bwa Ebola  mu ggwanga.

“Tokwata muntu yenna mu ngalo era tewali  nsonga lwaki omukwatamu  akusiige obulwadde .

Ebola mwangu okulwanyisa kubanga  omufuna mukwataganye n’omulwadde okusinga obulwadde nga Corona 19  obutambulira mu mpeewo nga twasobola okubulwanyisa ne tubutuka ku nfette “  Museveni bweyagambye ,

Abazinyi nga basanyusa abagenyi

Abazinyi nga basanyusa abagenyi

Museveni yagambye nti katandiike  n’akubayigiriza ssaayansi akwata ku ngeri  gyetusobola okwewala obulwadde  bwa Ebola okusaasana  kubanga bangi bali mu kutya okwamaanyi olw’onbulwadde buno .

Obulwadde buno bwobujjanjaba amangu buwoona kubanga omusujja omungi n’okuggwamu amazzi bye biviraako omulwadde wabwo okufa kyokka bino abasawo basobola okubijjanjaba omulwadde nawona  .

 Yagambye nti Ebola mwangu okulwanyisa singa ogoberera  amateeka  n’obukwakulizo obuyambako mu kubulwanyisa nga  tokwata mu ngalo zamulala gattako okugoberera amateeka ng’okunaaba mu ngalo

Yabyogedde bweyabadde aggulawo olukungana lwe by’obulambuzi  ku Speke Resort e Munyonyo wiiki ewedde

Yayongeddeko nti basisinkana olukiiko olukola ku kunoonyereza ku bulwadde bwa Ebola ne basalawo obutaggala nsalo za ggwanga lya Uganda ne DR Congo kubanga bamanyi eky’okukola mu kubulwanyisa .

Yayongeddeko nti tewali nsoga lwaki wabeerawo  obunkenke mu ggwanga ku bulwadde bwa Ebola  nga tebunaba kutuka mu ggwanga .

Yeemulugunyiriza ebitongole bye nsi yonna  ebigaba amawulire agatali matuufu kumbeera y’obulwadde buno  bwe bagambye  nti buli mu ggwanga lino ne Congo  ekireetawo okutya mu bantu  .

Yayongeddeko nti waliwo akatale bannayuganda nabannaCongo gye basisinkana  keyatiisiza okuggala kubanga kano kakunganya abantu abavudde mu bitundu ebyenjawulo akayinza okuletawo obuzibu mu bantu abakungana .

  Pulezidenti Museveni yenyumiriza mu mbeera y’obudde bwa Uganda kubanga yanjawulo okugerageranya ne bitundu by’ensi yonna ebirala  nti eggwanga lino liyitamu  layini ya “ Equator “ eyamba okukuuma embeera y’obudde nga tenyoggoga kiyittiridde ne bbugumu okumalako omwaka .

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abantu

Pulezidenti Museveni ng'ali n'abantu

Yayongeddeko embeera eno ogisana mu nsi endala bbiri  zezirina omukisa ku mbeera y’obudde buno  nga bwagenda ebweru awulira aliko  basubwa mu ggwanga  buli kiseera kyabeera taliwo wama mu ggwanga  .

Yagambye nti Uganda ekulaakulanye nga yatuuka ku ddala lya middle Income nga ekigiyambye  kwe kulima ebirime eby’okutunda ,  amakolero  n’okuddukkanya emirimu emirala ..

Yaongeddeko nti bagenda kwongera ku bbanga lya Viza ezzibwa  abakyala mu ggwanga okuva ku myezi esatu batandiike okugaba emyaka 2-3 nga  ensi endala bwezikola   .

Doreen  Katusiime , omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule ye by’obulambuzi  yagambye nti obutebenkevu obuliwo ne mirembe egyaletebwa mu bitundu ebyali byatagulwa entalo kye kimu ku biviriddeko enkulaakulana mu by’obulambuzi . Yayongeddeko nti eggwanga lyaffe liraze obuvunanyizibwa mu kulwanyisa  enddwadde ezenjawulo  omuli   Covd 19 ,  Ebola  nakawuka akalwaza Mukenenya ekiretedde okuliyimusa ku  mutendera gw’ensi yonna n’okwongera eby’obulambuzi ne  bayinvesita mu ggwanga . Yayongeddeko enkulaakulaana ye  nguudo abalambuzi mwe bayita okugenda mu bifo bye bagala okulambula nakyo kireesewo  enkulaakulaana mu bitundu     

Julian Kaggwa  akulira ekitongole kya ekivunanyizibwa ku by’obulambuzi ekya  Uganda Tourism Board (UTB)   yasimye pulezidenti Museveni okuwagira ekitongole kino  ekireresewo enkyukakyuka mu by’obulambuzi mu ggwanga      

Hoareau Kakooza nga yakulira akakiiko akafuzi akavunannyizibwa ku byobulambuzi aka  Uganda Tourism Board  (UTB)  yagambye  yasimye nti bajeti ye kitongole kyabwe yeyongera ebitundutundu 12% nga kigenda okubawa enkizo  okwongera  okulaakulanya  eby’obulambuzi

 Yayongedeko nti omuwendo gwa balambuzi abavadde mumawaqnga ge bulaya gweyongedde era nga basubira okukubisamu mu kiseera kya AFCON  .

Yoga Biriggwa nga ye pulezidenti we kibiina ekigatta abaddukkanya eby’obulambuzi mu ggwanga ekya Association of Uganda Tourism   Association yasimye pulezidenti Museveni kuleetawo emirembe  n’okwerinda okulungi  mu ggwanga