Amawulire

Omusajja abadde n'abakyala 4 bamusse omulambo gwe ne bagusuula okumpi n'ennyumba ye

OMUSAJJA omufumbo ow'abakyala abana, attiddwa, omulambo gwe ne bagusuula wabweru w'ennyumba ye.   

Omusajja abadde n'abakyala 4 bamusse omulambo gwe ne bagusuula okumpi n'ennyumba ye
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA omufumbo ow'abakyala abana, attiddwa, omulambo gwe ne bagusuula wabweru w'ennyumba ye.

Ettemu, libadde Nyarwemarira mu muluka gw'e Rubimbwa mu Ggombolola y'e Kirima e Kanungu , abatemu bwe basse Godfrey Tumwesigye nga mu kiseera ekyo muwala we y'abadde amulabirira.

Kitegeezeddwa nti omugenzi abadde ayawukanye ne bakyala be nga bafunyemu obutakaanya era nga muwala we Florence Kyomuhendo y'abadde amulabirira. Kigambibwa nti akedde okutwalayo embuzi, kwe kusanga omulambo gwa kitaawe wabweru nga baamusse kiro.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi Elly Maate, agambye nti omuyiggo, gugenda mu maaso okuzuula abatemu.