AKULIRA ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Maj. Tom Magambo attottodde engeri gy’atobye okukungubagira mutabani we ate nga bw’akola emirimu gye.
Yagambye nti wiiki ebadde nzibu nnyo gy’ali kubanga abadde alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku misango egimu ate nga bw’akungubagira mutabani we, Timothy Muganzi Magambo 18, eyafiiridde mu America.
“Akaseera kabadde kazibu naye nali sisobola kugamba ttiimu yange basooke bayimirize emirimu tukungubage.” Magambo bwe yagambye.
Bino, yabyogeredde mu Klezia ya Our Lady of Africa e Mbuya mu kusabira omwoyo gwa Mugazi eggulo ku Lwokubiri. Klezia yakubyeko ebikonge okuva mu Gavumenti okwabadde omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa, minisita w’ensonga z’omunda, Rt. Maj. Gen. Kahinda Otafire, akulira abalamuzi ba kkooti enkulu Jane Frances Abodo n’abalala.
Yagambye wiiki eno abadde mu kusoberwa nti era Pulezidenti waliwo lwe yamuyita okubaako by’amubuuza nti wabula buli kye yamubuuzanga ng’amuddamu kimu tamanyi era wano we yasinzidde ne yeetondera Pulezidenti olw’okumwanukula mu ngeri etematiza ng’amubuuza ensonga ez’omugaso ennyo.
Yannyonnyodde enfa ya mutabani we n’agamba nti si gwe gwabadde omulundi ogusoose okuwuga wabula ku mulundi guno bwe yagenze ne banne, yafunye obuzibu mu mazzi era banne baakanze kumulinda adde waggulu nga takomawo.
Yagambye nti, abasawo abeekebezze omulambo baabagambye nti yamaze ebbanga wansi mu mazzi ekyamuviiriddeko okufa. Yasiimye mukyala we, Caroline Nalwanga Magambo n’agamba nti akoze omulimu gwe nga maama eri abaana be era Muganzi okufa, yabadde atuusizza ekiseera Katonda kye yamugerera ku nsi.
Ye nnyina w’abaana yagambye nti abadde ne mutabani we wabula bulijjo takimanyi nti waamugaso nnyo eri ekitundu gye babadde babeera mu kibuga New York mu America.
“Omwana wange bwe yafudde, abantu bangi abazze awaka okukungubaga naye nga bamwogerako bingi by’abadde abakolera,” Caroline Magambo bwe yagambye.
Mmisa yakulembeddwa Fr. Hector Augustus Businge okuva mu ssaza ly’e Hoima ne Bwanamukulu w'ekigo ky'e Mbuya, Fr. James Patrick Jjumba.
Tayebwa yagambye nti bulumi bwa maanyi omuzadde okufiirwa omwana n’asaba Mukama agumye ffamire.
Ate Otafire yasabye ffamire obuteekuniza, batwale obudde bakungubagire omwana waabwe mu ngeri esaaniidde.
Muganzi waakuziikibwa enkya ku Lwokuna nga May 28, 2026 ku kyalo Kisarabwire mu distulikiti y’e Masindi