EBIKOLWA by’ettemu bizzeemu e Mukono, abantu abatannategeerekeka bwe basse abantu babiri mu bukamwe mu nnaku bbiri.
Abatuuze ku kyalo Bumbajja mu ggombolola y’e Nakisunga baakeeredde mu ntiisa ku Mmande, bwe baagudde ku mulambo gw’omusajja atannategeerekeka. Baasanze gwakuuliddwaamu amaaso n’amannyo nga gusuuliddwa ku mabbali g’ekkubo.
Gwabadde mu kitaba ky’omusaayi nga kiteeberezebwa nti, baamuttidde walala ne baleeta mulambo kuba ekifo tekyalaze nti, waabaddewo ensiitaano. Abatuuze baasabye abeebyokwerinda okubongera obukuumi kuba guno si gwe mulundi ogusoose okutemulira abantu mu kitundu.
Ssentebe w’ekyalo Bumbajja, David Kamwa yagambye nti, abatuuze be baamukubidde essimu ku makya nti, basanze omulambo. Oluvannyuma poliisi okuva e Mukono ng’eri wamu n’ey’e Kisoga yazze n’etwala omulambo mu ddwaaliro e Mulago.
Ate eggulo ku makya abatuuze b’e Nsoonga ekiriraanye Bumbajja baagudde ku mulambo gwa munnaabwe Ismael Isabirye,20, eyattiddwa abazigu ne bamutwalako ppiki. Omulambo gwabadde gutemeddwa nga guliko ebiwundu ebinene ku mutwe ne mu kifuba nga gusuuliddwa mu kasiko. Essimu ye n’engatto baabisudde awo ku mabbali.
Ssentebe w’e Nsoonga, Haruna Musirigwa yagambye nti, bateebereza ng’abatemu baakozesezza ebikujjuko by’abawagizi ba ArsenalYagambye nti, okuva Arsenal lwe yawangula ekikopo kya liigi ya Bungereza, abantu basula mu ngatto n’okubinuka, ekiwadde ababbi omwagaanya okubatigomya.
Yasabye poliisi enoonyereze era ekwate abagambibwa okubeera emabega w’ettemu lino.
Omulambo gwa Isabirye gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okugwekebejja ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Ekitundu ky’e Mukono gye buMagongavuddeko kyalimu ettemu ery’amaanyi erikyajjukirwa.
l Mu February w’omwaka guno eyali akulira embeera z’abayizi ku ttendekero lya Uganda Christian University (UCU), Pamela Ruth Tumwebaze, yattibwa omutemu eyamulumba ekiro nga yeebase mu maka ge n’amutuga.
l Mu September wa 2025, namukadde Christine Negesa,90, yasangibwa attiddwa ku kyalobuMagonga
mu ggombolola y’e Kimmenyedde. Omulambo gwaliko ebiwundu ebinene ku mutwe nga guli mu kitaba ky’omusaayi.
Waliwo omutuuze ku kyalo, Henry Onyango eyakwatibwa era n’atwala poliisi mu kifo we yali asudde ejjambiya gye yakkiriza nti, gye yakozesa okutemula Negesa