GALIWANGO eyali akulira akabinja akaatigomyanga abantu mu bitundu by’e Masaka nga babagalidde ebijambiya asibiddwa emyaka 125.
Abadde awerennemba n’emisango okuli egy’obutemu esatu, obwa kkondo, era omulamuzi Charles Kasibayo yamusibye emyaka 45 ku buli musango egy’obutemu ate ogw’obutemu omulala n’amusalira emyaka 35, awamu gye myaka 125.
Musa Galiwango, amanyiddwa nga Daudi Kaweesi nga yali abeera ku kyalo Ntuuma e Bukomansimbi yamanyibwa nnyo ne munne Muhammad Kiddalime bwe baakola akabinja k’ababbi ne batigomya Masaka nga bwe batta abantu.
Oludda oluwaabi lwakakasizza nti, nga January 1, 2018 baalumba ekyalo Kyabagoma mu maka g’omuserikale eyawummula Denis Ssebugwawo Lumala ne bamukanda ssente ate ne bamutta. Bano era batuusa obuvune ku muzzukulu Nancy Nabifo naye ebyamuviirako okufa.
Galiwango ne Kiddawalime bakkiriza okwenyigira mu butemu buno wabula Kiddawalime n’atoloka mu kkooti e Masaka kyokka oluvannyuma yattibwa mu bitundu by’e Kalungu.