Amawulire

Omugagga eyeewola ku mmanerenda gamumyuse

OMUGAGGA atabuse ne mmanerenda ng’amulumiriza okukuba ekibaati ku poloti ye, okumuwendulira abavubuka ne bamukuba n’okumunyagako ssente obukadde kkumi.George William Lutaaya nnannyini kkampuni ya CHEMA TECHINICAL SERVICES ne ggalagi mu Kayanja zzooni mu Ndeeba emisango yagigguddewo ku poliisi y’omu Ndeeba ku ffayiro nnamba 056/2026. Kyavudde ku bbanja lya bukadde 210 ezaamuwolebwa Stephen Kasana gw’ayogerako nga nnannyini kkampuni ewola ssente

Lutaaya
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUGAGGA atabuse ne mmanerenda ng’amulumiriza okukuba ekibaati ku poloti ye, okumuwendulira abavubuka ne bamukuba n’okumunyagako ssente obukadde kkumi.
George William Lutaaya nnannyini kkampuni ya CHEMA TECHINICAL SERVICES ne ggalagi mu Kayanja zzooni mu Ndeeba emisango yagigguddewo ku poliisi y’omu Ndeeba ku ffayiro nnamba 056/2026. Kyavudde ku bbanja lya bukadde 210 ezaamuwolebwa Stephen Kasana gw’ayogerako nga nnannyini kkampuni ewola ssente eya RULEMA INVESTIMENTS LTD.
Agamba nti, Kasana yamutegeeza bwe yakeerewa okumusasula, poloti gye yasinga n’agiguza Patrick Gashumba ate naye n’agiguza Fred Lukyamuzi.
Mu bbaluwa Lutaaya gye yawandiikira ekitongole kya poliisi ekikola ku nsonga z’ettaka mu Makindye nga March 17, 2026, asaba poliisi emuwe obukuumi bw’ettaka lye erisangibwa mu Ndeeba mu Kayanja zzooni ku Plot 359 Block 16. Asaba obukuumi bwa poloti ye era aweebwe ekiseera agitunde asasule ebbanja. Ayongerako nti ku bukadde 210 yasasulako 40 n’aweebwa lisiiti.
Ebbaluwa endala yagiwandiikira aduumira poliisi mu bitundu by’e Nateete nga April 7, 2026. Yeemulugunya nti, yaggyibwako emmundu y’obwannannyinbi gy’amaze nayo emyaka 40 ekika kya bbaasitoola nnamba UG IND 61829300893 n’emmotoka ye ekika kya Mitsubish UBE 902Y eyawambibwa n’etwalibwa e Makindye okumpi n’ekkanisa ya Prayer Palace.
Bukedde bwe yakubidde Patrick Gashumba, yategeezezza omusasi nga bw’atalina ky’amanyi ku nsonga ezo n’amusaba obutaddamu kumukubira ssimu. Ate zo essimu za Fred Lukyamuzi tezaabaddeko.
Lutaaya ayongerako nti, nga March 12, 2026 ogubinja gw’abavubuka abaali baduumirwa Fred Lukyamuzi nga bali ne poliisi y’omu Ndeeba baamulumba ku ggalagi nga yaakafuna 10,000,000/- okuva ku Margret Namaganda aterekera ekibiina ky’abasuubuzi b’omu Ndeeba ssente. Agamba nti baamukuba, Lukyamuzi n’amutuga ng’amulumiriza obutamusasula, n’okulemera mu kifo kye yagula. Agamba nti baamuggyako ssente zonna n’emmundu nti era kati eri mu mikono gya poliisi e Katwe.
Alaga ebbaluwa y’akalwaliro ka Mercy Medical Clinic gye yasookera ng’akubiddwa oluvannyuma n’akeberwa omusawo wa poliisi ku bbaluwa nnamba 2640 eyawandiikibwa Okello Olupo nga April 20, 2018 eraga nti Lutaaya yakeberwa omusawo omukugu Hudson Odong nti era yakosebwa omubiri, omugongo ne mu kifuba.
Omuduumizi wa poliisi y’e Katwe, Innocent Mubangizi yagambye nti poliisi ekyabuuliriza era yaakuvaayo n’ekiddako