YINGINIYA ate nga muyimba, aleese akapya. Ono ye Prince T mu by’okuyimba wabula
ng’amannya ge amatuufu ye Francis Twinomugisha.
Aweereza Mukama ng’ayita mu kuyimba ennyimba era afulumizza vidiyo y’oluyimba olupya lw’atuumye ‘Tompitako’ nga lwa ddiini. Prince T agamba nti okuwandiika oluyimba luno, abadde alaajanira omwana wa Katonda, Yesu obutamuyitako mu kiseera ng’asumulula abali ku njegere. Ayimbye ennyimba ez’enjawulo okuli; Hossana ekitiibwa, Omukisa n’endala