Amawulire

RDC atongozza ebizimbe by’amasomero

RDC w’e Rwampara, Harriet Nakamya alabudde abakulu b’amasomero n’obukiiko bwago okukomya okubinika abazadde ebisale nti, ekisanja kino kijja kubatwala kuba Pulezidenti Museveni akooye okubabiibiita.

by’amasomero Ssaabalabirizi Kazimba asiibudde ab’e BugisuSsaabalabirizi Bugisu RDC Nakamya (wakati) mu kutongoza ebizimbe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

RDC w’e Rwampara, Harriet Nakamya alabudde abakulu b’amasomero n’obukiiko bwago okukomya okubinika abazadde ebisale nti, ekisanja kino kijja kubatwala kuba Pulezidenti Museveni akooye okubabiibiita.
Nakamya okulabula kuno yakukoledde mu kutongoza ebizimbe by’amasomero okuli ekya Rugarama P/S ne Mirama P/S nga baazimbyeko ebibiina ne kaabuyonjo. Yagambye nti, okusaba ssente mu masomero ga UPE kikyamu kuba abayizi balina kuba na bitabo yunifoomu ssaako ebyetaagisa ebirala nga ekkalaamu.
Yategeezezza nti, omulimu gw’omuzadde gwa kusibira mwana ntanda bw’aba talina ssente za mmere etundibwa ku ssomero. Nakamya yasabye abakulira amasomero okuba n’amazima ng’abayizi be balina mu bitabo be bali ne mu bibiina.
Ssentebe wa Rwampara, Richard Owomugasho yasiimye Gavumenti olw’okubawa ssente z’okuzimba amasomero, okutuusa amazzi mu byalo n’asaba baweebwe ssente eziwera okukola enguudo z’omu byalo.
Yalabudde n’abasomesa bassemugayaavu ssaako balujuuju nti tebajja kubagumiikiriza. Sipola Tushemerirwe, ow’ebyenjigiriza, yagambye nti batandise okusisinkana abakulu b’amasomero okulaba nga basikiriza abaana okukomawo mu masomero kuba kati ebibiina babizimbye.