KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde Bannabitone amagezi okukozesa obulungi ensimbi zebaggya mu bitone byabwe kibayambe okuziganyulwamu.
Mayiga agamba nti bwebafuna 1,000,000/- baggyeko 400,000/- bagizze mu mulimu gyebakola, 300,000/- bazitereke ate 300,000/- bazirye n’abantu baabwe.

Nina Roz omu ku bannabitone ng'ayogera mu lukiiko e Mmengo
Obubaka buno abuweredde Bulange-Mmengo bwabadde asisinkanye Bannabitone omubadde Reigns ng’erinnya lye etuufu ye Obed Lubega ne Maulana ng’ono erinnya lye ye Haidali Kasozi ne bannaabwe abalala n'abategeeza nti kiba kikyamu nnyo okukola akakadde kalamba ate ne balyako emitwalo 80.
Katikkiro Mayiga era abasabye okutereeza ensonga z’amaka gaabwe nga kino kijja kubawa amaanyi n’obutebenkevu mu bwongo, ebirowoozo, okufuna essanyu olwo basobole okukola emirimu gy'abwe obulungi.
Abawadde amagezi nti bwebabeera nti tebannawasa, nga bakyekwana basaanye beekwekeko, bireme kuleeta nsasagge mu bulamu bwabwe olw’ettuttumu lyebalina.
Minisita w’abavubuka, emizannyo n’ebitone, Ssaalongo Robert Sserwanga yeebazizza Bakazanyirizi olw’omulimu gwebakola mu kaweefube w’okukulakulaanya Obwakabaka n’abasaba nga bakola omulimu gwabwe okufuba okugukolera ku mutindo ogwa waggulu.

Katikkiro Mayiga ng'ayogerako eri Bannabitone abakyadde e Mmengo
Kazanyirizi Reign yeebazizza Katikkiro Mayiga okufissa akadde okubasisinkana bamubuulire embeera y’omulimu gwabwe n’agamba nti beewadde omulimu gw’okusomesa abavubuka ku bikwata ku nnono.
Maama Sam ng’erinnya ye Lydia Nakitto agambye bagenda kwongera okuyiiya okulaba nga bawa abavubuka emirimu kubanga bangi bagenda ebweru nga wano mu Uganda tegiriiwo.
Ku kibinja kya Bannabitone bano kubaddeko n’Omukozi wa Bukedde Famire Bruno Betty ng’erinnya lye ye Bruno Sserunkuma yeebazizza Katikkiro Mayiga olw’obubaka obw'amakulu bwabawadde naddala ku nkwata y’ensimbi entuufu.
Bannabitone abalala kubaddeko omuyimbi Nina Roz Kakunda, Ssenga Nantume n’abalala.