ABAZADDE bawabuddwa okufaayo okubuulirira abaana baleme okwenyigira mu bikolwa ebyomukwano ng’atebanetuuka kino kibayambe okwewala obuzibu bwebayinza okufuna nsinga bafuna embuto zebateyagalidde.
Bino bibabuuliriddwa Dr Peter Ssebadduka akolera mu kitongole kya Associate of Obstetricians & Gynaencologists of Uganda ekigatta abasawo abazaalisa bweyabadde ayogerako eri banamawulire abegattira mu kibiina kya Health Journalist Network Uganda e Kamwokya.
Agambye nti abayizi bangi abamassomero abaddusibwa mu malwaliro ngabali bubi oluvanyuma lw’okugezaako okwegyamu embuto ngabakozesa ebintu ebyenjawulo ng’asabye abazadde okubuulirira abaana baabwe ababataase okufiira mu bikolwa bino.
Ayongeddeko nti omuwendo gwabakyala abafiira mu ssanya 10 ku 100 abaffa oluvanyuma lw’okugezaako okugyiramu embuto mu biffo ebitasanidde olw’okubulwa okulugamizibwa.
Ye Joseph Mwebaza Abubarks akolera mu kitongole kya Centre for Women Service Uganda awabudde abakyala abafuna obuzibu ngabafunnye embuto okusooka okwebuuza kubasawo abakugu baabawabule basobole okufuna obujanjabi obw’ekikugu.
Ate ye Gabby Kokumbya alabudde abayizi abakyasoma okuteeka essira ku misomo gyabwe bewaale eby’omukwano ebiyinza okubaviirako okuffa ngabafunye embuto zebateyagalidde ng’ono yewereddeko eky’okulabika kungeri gyeyaboonabonamu bweyetaba mu byomukwano ng’akyasoma.