Amawulire

Abagambibwa okutta muwala weeyali Katikkiro babasomedde emisango esatu

ABAGAMBIBWA okutta muwala weyali Katikkiro, Lydia Babirye Sengendo basomeddwa emisango esatu okuli ogw’okuwamba n’ekigendererwa ky’okunyaga ssente, okubbisa eryanyi ssaako okutta omuntu mubugenderevu.

Abubaker Ntege ku ddyo ne Shafik Kagga ku kkono nga batwalibwa mu kkooti e Wakis
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

ABAGAMBIBWA okutta muwala weyali Katikkiro, Lydia Babirye Sengendo basomeddwa emisango esatu okuli ogw’okuwamba n’ekigendererwa ky’okunyaga ssente, okubbisa eryanyi ssaako okutta omuntu mu bugenderevu.

Abubaker Ntege 32 nga mutuuze we Kiteredde ne Shafik Kagga 26 omuvuzi wa Booda e Nakuwadde bebaasimbiddwa mumaaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Wakiso, nebasomebwa emisango esatu.

Abubaker Ntege ku ddyo ne Shafik Kagga ku kkono nga batwalibwa mu kkooti e Wakiso

Abubaker Ntege ku ddyo ne Shafik Kagga ku kkono nga batwalibwa mu kkooti e Wakiso

Bano baaleteddwa nga bali ku mpingu era olwaatusiddwa mu kisenge kya kkooti, baalabise nga bakankana emibiri nga n’amaziga gagala kubavaamu, baategezezza nti ebibavunanibwa tebabimanyi nti babibatekako buteesi.

Kkooti yatandise ku ssaawa 9;25 era yakubyeko ab’oluganda abaakedde ku kkooti oluvannyuma lw’okutegezebwa nti kkooti egenda kutuula era obukuumi bwaabadde bwamaanyi nnyo munda wa kkooti newabweru.

Omulamuzi Naume yasomedde Ntege ne Kagga emisango era nababuuza oba bagitegedde, kyokka nabategeeza nga kkooti ye bwetalina buyinza kubawozesa kuba emisango gya naggomola.

Yategezezza nti kyokka bano bayinza okusaba okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti nga kino balina kukikola mu kkooti enkulu yokka etuula e Wakiso, era wano weyasabidde omuwaabi wa Gavumenti okubaako byategeeza kkooti.

Peninah Joy Nakaweesa nga ye muwabi wa kkooti e Wakiso, yategezezza kkooti nti okunonyereza ku musango kukyagenda mumaaso nga balina obujulizi obw’enjawulo bwebakunganya okusobola okuvaayo ne fayiro ejjudde era nasaba omusango gwongezebweyo.

Ekibadde mu kkooti

Ekibadde mu kkooti

Omulamuzi Naume yasinzidde ku muwabi wa Gavumenti omusango nagwongezaayo okutuusa nga July 8, 2026 era nasindika Ntege ne Kagga ku limanda mu kkomera lya Gavumenti e Kigo.

Kigambibwa nti nga June 3, 2026 Ntege ne Kagga baawamba Babirye ku kyalo Kiteredde mu Town Council ye Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso era nebakanda ab’oluganda lwe ssente obukadde 19 nga bakozesa essimu y’omugenzi.

Bano era okusinziira ku kkooti, benyigira mu kubbisa eryanyi bwe babba essimu ya mapeesa, essimu endala eya Samsung, ATM kaadi za bbanka okuli Absa ne Centenary, densite y’omugenzi, ssaako ne layini za MTN ne Airtel.

Omulambo gwa Babirye baagusiba mu mufaliso era oluvannyuma nebamuteeka mu nnyumba e Kiteredde mu Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso