Amawulire

Ssente obuwumbi 56 ez’okulonda kwa LC zituuse

MINISITULE y’ebyensimbi ewadde akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 56 ezigenda okweyambisibwa okutegeka okulonda kwa LC 1, LC 11 n’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna.

Ssente obuwumbi 56 ez’okulonda kwa LC zituuse
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITULE y’ebyensimbi ewadde akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 56 ezigenda okweyambisibwa okutegeka okulonda kwa LC 1, LC 11 n’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna.
Dayirekita avunaanyizibwa ku bya Bajeti mu minisitule y’ebyensimbi, Hannington Ashaba yategeezezza Bukedde nga bwe baaweerezza akakiiko k’ebyokulonda ssente ze baasaba okutegeka okulonda kwa LC. “Obuwumbi 56 akakiiko zeB kaasabaN twazibaweerezza ku akawunti zaabwe ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, era kati kiri gyebali okulangirira entegeka z’okulonda mu bujjuvu” Ashaba bwe yagambye.
Omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Kamugisha yagambye nti bulijjo babadde beetegefu, kyokka ng’ebbula lya ssente lye libasibye. Oluvannyuma lw’okufuna ssente yasuubizza bwe bagenda okufulumya entegeka mu bujjuvu mu kiseera ekitali kyewala.
Olukiiko lwa Kabineeti lwe lwasooka okuyisa ssente z’okulonda LC mu February eraN eyali minisita wa Gavumenti z’ebitundu, Raphael Magyezi n’ategeeza nti okulonda kwali kwakubeerawo mu mwezi gwa March ne April ekintu ekitaasoboka.
Nga May 5, 2026, Palamenti yayisa ennyongereza ya ssente obuwumbi 1,100 ezaali ez’okweyambisibwa okutegeka okulayira kwa Pulezidenti, okutegeka ekikopo ky’amawanga ga Africa n’okulonda obukiiko bwa LC. Eyali minisita omubeeziB ow’ebyensimbi Henry Musasizi ye yatwala ennyongereza mu Palamenti n’ategeeza nti okulonda obukiiko bwa LC kwali kugenda kumalawo obuwumbi 56 n’obukadde 940.
Uganda yakoma okulonda abakulembeze ba LC mu 2018 ng’ekisanja kyabwe kyalina okuggwaako mu July wa 2023, ng’okuva olwo okulonda kuzze kwakongezebwayo emirundi mukaaga nga buli mulundi bongerayo ennaku 180 olw’ebbula ly’ensimbi. Okwongerayo okusembyeyo mu March wa 2026 kulaga nti ekisanja ky’abaliko kiggwaako mu June wa 2026. Okulonda kusuubirwa okutegekebwa ku byalo 71,230 n’emiruka 10,717 okwetoloola eggwanga lyonna era nga kugenda kubeera kwa kusimba mu mugongo.
Akakiiko k’ebyokulonda gye buvuddeko kaategeeza nti bagenda kuwandiika abakozi 142,500 abagenda okweyambisibwa mu kulonda kwa LC 1, LC 11 n’obukiiko bw’abakyala ku mitendera gyonna. Abakozi kuliko abagenda okutimba enkalala, okukakasa abalonzi, okulondesa, okulangirira ebivudde mu kulonda n’emirimu emirala mingi. Wadde nga Gavumenti esasula aba LC 1 ne LC 2 ensako ya 10,000/- buli mwezi naye bangi abakiyayaanira olw’ebirungi ebirala enkumi ebiri mu ofiisi.