OBULWADDE bwa ‘Endometriosis’ bukyeriisa nkuuli mu bakyala n’abawala abagenda mu nsonga.
Grace Nagawa, akulira ‘Endomestriosis Foundation Uganda (EFU) ekibiina omwegattirwa bakyala ababulina abasukka mu 400, agamba nti, batambula mu masomero, amalwaliro n’ebifo omuli abakyala kyokka bazuula bangi abatawaanyizibwa endomestriosis.
Agamba nti, abakyala bwe bagenda mu malwaliro, babagamba kimu nti, balina yinfekisoni. Ne balyoka babapiika eddagala eritabayamba. Ate bwe kituuka mu bawala abato, abazadde n’abeng’anda babagamba nti, bagume, obulumi bujja kugenda nga batandise okuzaala, ekitali kituufu okusinziira ku bakugu.
Omusawo Connie Quandat,30, amaze n’ekirwadde kino emyaka 17. Agamba nti, ku myaka 13 yatandika okugenda mu nsonga era ng’alumizibwa nnyo n’okufukumuka omusaayi. Wiiki nnamba yagimalanga mu ‘sick bay’ ku ssomero.
“Essomero lyonna lyategeeranga nti, ndi mu nsonga. Ekirungi twalinga bawala ffekka era abamu nga bagamba nti, nneekoza,” Quandat bw’agamba. Yatuuka ekiseera nga panado takyakola. Omusawo yagattangako empiso okuweweeza obulumi.

Omukyala ng’alumizibwa.

Abantu byeboogera
Abakyala abalala basinduukirirwa emmeeme, okusesema, okuzimba olubuto n’okulumizibwa nga beegatta oba nga beeyamba. Waliwo n’abatawaanyizibwa mu bwongo ne batuuka n’okwekyawa.
Ebyembi, abantu bangi okuli n’abasawo, tebabumanyi olwo ne kivaako ababulina okulwawo okufuna obujjanjabi obutuufu okukkakkana nga balemeddwa n’okuzaala.
“Tetumanyi kituufu kireeta endometriosis, wabula olumu butambulira mu musaayi era ffamire ezimu zibulina,” Dr. Sematimba bw’agamba.
Ayongerako nti, omukazi yenna talina kulumizibwa ng’ali nsonga. Bwe kiba kibaddewo, obulumi tebulina kumulemesa kukola mirimu. Buli lwe busukka, genda mu sikaani abakugu bakukebere ekirwadde kya endometrioses ng’ekiwundu tekinnasamba ddagala.
Annyonnyola nti, buli lw’olwawo okufuna obujjanjabi obulwadde bufuuka bwa bbeeyi nnyo nga n’olumu okubulongoosa kuyinza okumalawo obukadde obusukka mu 20.
EMMERE NKULU MU KUJJANJABA ENDOMETRIOSIS
Dr. Joseph Muhumuza, eyakuguka mu bulwadde buno agamba nti, emmere eyamba nnyo okubukkakkanya.
Abulina alina okulya ennyo ebibala, enva endiirwa, ebijanjaalo, ebyennyanja, ennyama enjeru okugeza ey’akamyu n’emmere y’omu ttaka.
Alina okwewala ebisiike, amasavu n’ebyokulya n’okunyLwakunawa ebirimu ssukaali.
Okwewala ebirowoozo n’okukola dduyiro nabyo biyambako okukkakkanya obulumi.
EBIBALO BY’ABABULINA
Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization, abakazi abasukka mu bukadde 176 be balina obulwadde buno mu nsi yonna. Ate mu Uganda, aba Endometriosis Foundation bateebereza nti ku buli bakazi 10, musanvu babulina. Kyokka minisitule y’ebyobulamu tennakola kunoonyereza okumanya ennamba entuufu ey’ababulina