Amawulire

Aba Kiddawalime - Namungoona ne Strathearn Masanafu batenderezza PASS PLE wa Bukedde

ABAYIZI n’abakulira amasomero bayongedde okujjumbira okukozesa akatabo aka PASS PLE wa Bukedde akafuluma buli lwa Mmande ne ku Lwokuna mu lupapula lwa Bukedde, ne batendereza omutindo gw’abasomesa abateekateeka ebibuuzo ne ansa.

Abayizi b’essomero lya Kiddawalireme Preparatory School Namungoona nga basomesebwa mu PASS PLE.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAYIZI n’abakulira amasomero bayongedde okujjumbira okukozesa akatabo aka PASS PLE wa Bukedde akafuluma buli lwa Mmande ne ku Lwokuna mu lupapula lwa Bukedde, ne batendereza omutindo gw’abasomesa abateekateeka ebibuuzo ne ansa.

Omukwanaganya w’akatabo kano mu lupapula lwa Bukedde, Miriam Nambatya, ng’ali wamu ne Andrew Kamukama, omu ku bavunaanyizibwa ku kutunda empapula z’amawulire mu Vision Group baakyalidde agamu ku masomero agali mu nteekateeka eno okulaba bwe gakozesa akatabo ka PASS PLE n’okufuna ebirowoozo byabwe.

Batuuse ku ssomero lya Strat hearn Primary School Masanafu ne basanga ng’abayizi bali mu kwesomesa mu kibiina nga bakozesa Bukedde.

Abayizi ba Strathearn Masanafu nga bakubaganya ebirowoozo ku ansa za PASS PLE.

Abayizi ba Strathearn Masanafu nga bakubaganya ebirowoozo ku ansa za PASS PLE.

Alex Katende, omusomesa ku ssomero lino yeebazizza Bukedde olw’akatabo kano n’ategeeza nti, omwaka oguwedde baatuuza abayizi 40 aba P7 bonna baayitira waggulu kuba baakozesa akata bo ka PASS PLE. Agamba nti, omwaka guno ennamba y’abayiziba P7 erinnye okutuuka ku 64 era basuubira ekirungi okuva mu bayizi bano kuba baatandika

okukozesa PASS PLE mu budde.

Ku Kiddawalime Preparatory School e Namungoona, abayizi nayo baabadde mu kukubaganya birowoozo ng’abayizi bakozesa akatabo ka PASS PLE.

Laeticia Nakiyingi, omuyizi ku Kiddawalime, yasiimye abazadde n’abakulira essomero

olw’okubatuusaako akatabo ka PASS PLE, ke yagambye nti, kabayambye okulaba nga bagaziya okumanya kwabwe era n’asiima Bukedde olw’omutindo gw’akatabo kano.

Martin Oloro, akulira eby’okusoma ku Kiddawalime Preparatory School Namungoona, agamba nti, ng’abaludde nga bakozesa akatabo kano bakeenyumirizaamu olw’ebibala bye bakafunyeemu era n’akunga abazadde okubawa abaana kubanga kye bakola bakimanyi, n’amasomero amalala n’agakunga okwettanira akatabo kano.

Nambatya yasiimye omutindo ogwayoleseddwa abayizi mu kuku baganya ebirowoozo n’abawabula okukung’aanya awamu empapula zonna ze basoma kibayambe okubanguyiza okusoma nga balimu biseera ebisembayo.

Tags: