BANNAKIBIINA kya Mothers Union mu Bulabirizi bw’e Namirembe babugaanye essanyu oluvannyuma lwa kkooti eyakulembeddwa omulamuzi Simon Peter Kinobe okubatabaganya n’aba kkampuni enzimbi eya Buconi abaali baawamba ekizimbe kyabwe nga mu kiseera kino kiri mu mikono gyabwe era bakkaanyizza okubasasula obukadde 500 mu kifo ky’akawumbi.
Bino byategeezeddwa Pulezidenti wa Mothers Union, Roseline Biingi Kawiso mu kusaba okw’okwebaza okwategekeddwa e Namirembe ku kizimbe kya Mothers Union nga kwakulembeddwamu Rev. Stephen Lumu akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri e Namirembe era nga kwetabiddwako abakulembeze mu Mothers Union, Ssentebe w’abavubuka Arther Kalumba, n’abalala.
Yagambye nti, ekizimbe kigenda kuganyula Abakristaayo bonna Ekizimbe kyali kyatuumibwa Mothers Union Developers wabula erinnya bagenda kulikyusa kituumibwe ekizimbe kya Mothers Union.