Amawulire

Omusuubuzi afiiridde mu muliro ogukutte edduuka lye e Mbarara!

Poliisi e Mbarara eri mu kunoonyereza ku bantu abayinza okuba nga baateekedde edduuka ly'omusuubuzi omuliro ogumusse.

Omusuubuzi afiiridde mu muliro ogukutte edduuka lye e Mbarara!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Mbarara eri mu kunoonyereza ku bantu abayinza okuba nga baateekedde edduuka ly'omusuubuzi omuliro ogumusse.

Afudde ye Fred Tumusiime 55, ng'abadde abeera Nyakizi e Kakoba kyokka ng'edduuka lye ery'ebyamassanyalaze , libadde ku Bishop Wills ku luguudo lwa Garage Street mu kibuga Mbarara.

Kigambibwa nti omusuubuzi ono, yafiirwa mukyala we emyaka etaano egiyise era ng'okuva olwo, abadde alinga aliko ekizibu.

Omwogezi wa poliisi e Rwizi , Samson Kasasira, agambye nti , ono yavudde awaka n'alekawo amasimu okugenda ku dduuka nga kino kyaddiridde edduuka okukwata omuliro ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mbarara gy'afiiridde.

Tags:
Amawulire
Mbarara
Muliro
Kukwata
Dduuka
Kufa
Kitalo!