Amawulire

Amasomero agatalina bisaanyizo gaggaddwa e Wakiso

EKIRAGIRO kya minisitule y’ebyenjigiriza ku kuggala amasomero agatalina layisinsi zigakkiriza kuddukanyizibwa kitandise okuluma ab’ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Wakiso bwe baggadde amasomero 3 agaasangiddwa nga gasomesa mu bukyamu. 

Ab'ebyenjigiriza nga bekenneenya ekisulo
By: Ssaava Peter, Journalist @New Vision
EKIRAGIRO kya minisitule y’ebyenjigiriza ku kuggala amasomero agatalina layisinsi zigakkiriza kuddukanyizibwa kitandise okuluma ab’ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Wakiso bwe baggadde amasomero 3 agaasangiddwa nga gasomesa mu bukyamu. 
 
Ekikwekweto kino kyakoleddwa akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti ye Wakiso Prim Ritah Nanyanzi ng’ali wamu n’akulira eby’okulambula amasomero mu Wakiso Town Council ne Wakiso Sub- County Simon Ssekamatte.
Erimu ku masomero agaggaddwa

Erimu ku masomero agaggaddwa

 
Bano baasokedde ku ssomero lya Precious Oil gye baasanze nga teririna bbaluwa erikkiriza kukola, abasomesa nga tebalina mpapula ate nga nabayizi befutiise mu bibiina ebifunda.
 
Ssekamatte yaguddewo ekigwo bweyasanze ng’essomero ebipande biraga nti baliyita Precious Oil kyokka ate okwetegereza yunifoomu z’abaana zebambala nga ziriko linnya lya God’s Glory.
 
Yakunyizza nannyini ssomero lino Damalie Nabbuto kulwaki asomesa abaana nga talina lukusa, kyokka Nabbuto n'ategeeza nti abadde akyakola kumpapula ezetegisa alyoke awandiise essomero lye mu mateeka.
 
Kino Ssekamatte teyakiwulirizza nalagira Nabbuto okuggalawo bunnambiro era namuwa ebbaluwa eraga nti tddamu okusomesa abayizi okutuusa nga amaze okutereeza ebizibu ebiri ku ssomero.
Abakulira eby'enjigiriza nga bekenneenya

Abakulira eby'enjigiriza nga bekenneenya

 
Ssekamatte yasabye abazadde obutalimbibwa na bbasale ate ng’amasomero tegatukiridde, nabasaba okutwala abaana mu masomero ga Gavumenti okuli Kisimbi C/U, Kavumba C/U Yowana Maria Muzeeyi P/S gonna agasangibwa mu Wakiso.
 
Bwebaavudde wano, ab’ebyenjigiriza beyongeddeyo ku ssomero lya Haven Junior School mu Wakiso nayo gye baasanze nga nayo tebalina bbaluwa ebakkiriza kuddukanya ssomero.
 
Omukulu w’essomero Juliet Nanfuka yakunyiziddwa ku lwaki balemye okufuna layisinsi ebakkiriza okukola  kati emyaka 3 nategeeza nti naye abadde akyategeka mpapula za ssomero awandiise lumu.
 
Mukulambula essomero, ab’ebyenjigiriza baaguddewo ekigwo bwe baasanze ng’ekisulo ky’abawala n’ekyabalenzi biri wamu ate nga tekuli nziji, ate nga n’ebyandibadde ebisenge baakozesa bubaawo.
Agamu ku masomero agalambuddwa

Agamu ku masomero agalambuddwa

 
Gano amasomero, ab’ebyenjigiriza baagagasse ku Rosette Junior School e Senge mu Wakiso eryasooka okuggalwa oluvannyuma lw’okusanga nga baajingirira layisinsi ate nga n’abasomesa tebalina mpapula zibakkiriza kukola.
 
Akulira eby’enjigiriza mu Wakiso, Prim Ritah Nanyanzi yategezezza nti baalabula amasomero gonna ng’olusoma luno lutandise kyokka abamu nebatafaayo kutekesa kino munkola.
 
Yagambye nti tebalina gwebagenda kuttira ku liiso nga tebagenda nakukoma kukuggala buggazi masomero wabula bagenda kuwandikira minisitule y’ebyenjigiriza esazeemu ebbaluwa zaabo abagaddukanya mubukyamu.
Tags: