Amawulire

Eyeeyita omukozi mu 'state house' n'anyaga ku mubaka wa palamenti ssente akwatiddwa

Hope Tumwebaze nga musuubuzi w'e Kamukuzi mu kibuga ky'e Mbarara, y'akwatiddwa poliisi mu Kampala oluvannyuma lw'okumulumiriza okubba obukadde 60.

Eyeeyita omukozi mu 'state house' n'anyaga ku mubaka wa palamenti ssente akwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omukazi agambibwa okufera abantu omuli n'ababaka ba Palamenti nga yeeyita omukozi mu ofiisi ya pulezidenti, akwatiddwa.

Hope Tumwebaze nga musuubuzi w'e Kamukuzi mu kibuga ky'e Mbarara, y'akwatiddwa poliisi mu Kampala oluvannyuma lw'okumulumiriza okubba obukadde 60.

Kigambibwa nti aliko omubaka wa palamenti gwe yalimba n'amunyagako ssente ng'amusuubiza okumuyambako mu kwekulaakulanya ne pulojekiti ez'enjawulo mu kitundu ky'akiikirira.

Kitegeezeddwa nti abadde yeefuula ava mu maka g'omukulembeze w'eggwanga n'alimba okuyambako ku kutwala mu bitundu pulojekiti ez'enjawulo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ono abadde abikola wakati wa June 2025 era ng'okumunoonyerezaako, kugenda mu maaso

Tags:
palamenti
Mukozi
Mukyala
Mukazi
Kweyita