Amawulire

AMASIRO G'E KASUBI: Katikkiro alangiridde enteekateeka z'omukolo gw'okusala ekisasi

OMUKOLO gw'okusala ekisasi ky'enju Muzibwazaalampanga mu Masiro e Kasubi gwakukolebwa ku nkomerero y'omwezi ogujja.

Katikkiro Mayiga (mu ssuuti) ng'alambuzibwa emirimu egikolebwa mu Masiro e Kasubi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUKOLO gw'okusala ekisasi ky'enju Muzibwazaalampanga mu Masiro e Kasubi gwakukolebwa ku nkomerero y'omwezi ogujja.
Omukolo guno, gwe gunaalangirira mu butongole okumalirizibwa kw'enju eno omugalamidde Bassekabaka bana; Muteesa I, Mwanga II, Daudi Chwa II ne Muteesa II.

Omukolo guno gututte ebbanga okuva Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga lwe yalangirira nga December 12, 2025 nti gwokka gwe gubulayo.
"Okusalibwa kw'ekisasi, gwe mukolo ogulaga nti enju emaliriziddwa mu butongole. Embaga ey'okumaliriza omulimu guno, ekolebwa nga Kabaka bw'aba asiimye," Omukungu Najib Nsubuga akulira ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda bwe yannyonnyodde oluvannyuma lw'okulambuza Katikkiro Mayiga omulimu gw'Amasiro ku Lwokutaano oluwedde.
Mayiga yagambye nti, baagala ekifo kino kiteekebwe ku mutindo ogunaasanyusa abalambuzi.
Omukolo gw'okusala ekisasi kya Muzibwazaalampanga gwakukolebwa Mugema w'e Kaababbi-Busiro. Bw'amaliriza, ng'akwasa Wabulakayole w'amasiro gano okuyooyoota omulimu guno.
Enju Ndogoobukaba omuli eng'oma za Bassekabaka yayooyooteddwa era Mayiga yategeezezza Bannamawulire nti, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II omulimu gw'okugizza ku mutindo yagwekwatiramu. Yeebazizza Kabaka olw'okuteekamu amaanyi okulaba nga Kasubi addawo.
Waliwo enju endala eziddaabiriziddwa ng'omulimu, Mayiga yagambye nti gwakulembeddwa Omulangira David Kintu Wasajja, oluggya lwakoleddwa mu ngeri etambuza obulungi amazzi, amataala gaaka bulungi n'amazzi gateereddwaamu.
Katikkiro Mayiga yagambye nti, gagenda kulabirirwa nga kalira okukuuma omutindo. N'agamba nti, tuli mu nteekateeka eyitibwa 'Situla omutindo, nga tekoma ku bantu ssekinnoomu wabula n'ebifo by'Obwakabaka okulaba nga bibeera ku mulembe.
Mu 2001, Kabaka yasiima ekifo kino kiteekebwe ku lukalala lw'ebifo eby'omuwendo ku nsi mu kitongole ky'amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku kutumbula ebyenjigiriza n'obuwangwa (UNESCO).
Amasiro gano bwe gaggya mu 2010, gaggyibwa ku lukalala okutuusa mu 2023 lwe gazziddwaako oluvannyuma lwa UNESCO okukakasa nti gazziddwaawo mu kifaananyi kyago eky'edda. Amasiro gano gaakwata omuliro nga March 16, 2010.

Tags: